“Owekiitibwa omulamuzi sisobola kukwata mwana kuba ndi mulwadde wa mutima.”
Ebyo bye bimu ku bigambo bya Ramanthan Bwiire 37 omutuuze wa Upper Mawanda Road Mulago mu munisipaali y’e Kawempe bwe yabadde asimbiddwa mu maaso g’omulamuzi wa Kkooti ya LDC e Makerere Martins Kirya n’asomerwa omusango gw’okusobya ku mwana atanneetuuka.
Oludda oluwaabi lwategeezezza kkooti nti nga May 15 mu zooni ya Upper Mawanda Road Mulago mu munisipaali y’e Kawempe Bwiire yasobya ku mwana ow’emyaka 13 amannya gasirikiddwa.

Oluvannyuma lwa Bwiire okutegeeza omulamuzi nga bw’atasobola kusobya ku mwana kuba mulwadde wa mutima, omulamuzi yamubuuziza oba nga n’ebitundu ebirala birwadde.
Bwiire yeekyusizza n’ategeeza ng’ ekitundu ekyo bwe kijjudde empalana kyokka n’alemererwa okubannyonnyola empalana zaayogerako kwe ziva wabula oluvannyuma lw’okwerowooza n’ategeeza nti w’akolera baagala kutwalawo kyokka nga talina gw’alumiriza .
Omulamuzi Kirya yamusindise mu kkomera e Luzira okutuusa nga June 8, 2023 kwanaakomezebwawo okuwulira kkooti.