23.6 C
Los Angeles
September 23, 2023
Image default
AmawulireFeatured

BA CDO BASATU BASINDIKIBWA KU ALIMANDA MU KKOMERA

Ba CDO basatu aba district okuli Pallisa, Butebo ne Kibuku basindikibwa ku alimanda mu kkomera lya gavumenti e Kamuge mu Pallisa okutuusa nga 21/04/2022, bano bakwaatibwa oluvannyuma lwo kugezaako okukola olukujjukujju n`okukyankalanya ebiwandiiko ku nsimbi za Parish Development Model (PDM), ba CDO bano okuli Kabuna Dan 41 owe Butebo avunaanibwa omusango oguli mku CRB 070/2022 ono avunaanibwa wamu no musuubuzi we Butebo Mugoda Adam 38 nga kigambibwa nti ono yamuyambako okukuluppya ebiwandiiko.

CDO wa Pallisa Wamire Dawson ku poliisi e Pallisi oluvannyuma lwe

CDO omulala owe Pallisa ye Wamire Dawson 56 ono avunaanibwa okujingilira lisiiti ezaaliko emiwendo nga gya bukuluppya oguli ku CRB 198/2022, asindikiddwa ku alimanda okutuusa nga 21/04/2022, omulala ye Negesa Hadija Lubega CDO we Kibuku omusango gwe guli ku CRB 94/2022 naye avunaanibwa omusango gwa kugezaako kupaaza miwendo na kukola lisiiti njingilire, wabula ono yeyimiriddwa oluvannyuma lwa kkooti okukizuula nti mulwadde wabula alagiddwa okulipotinga ku kkooti nga 14/04/2022 omusango lwe guddamu okuwulirwa. Bano bonna bakwaatibwa ku biragiro bya amumyuuka coordinator wa PDM Jovrin Kaliisa Kyomukama.  

Related posts

MelBet gifts disabled person with an iPhone 12 Pro Max

OUR REPORTER

Eyasobya ku mwana wemyaka 7 gamumyuse.

OUR REPORTER

Abantu bataano bafiridde mu kabenje e Kampala.

OUR REPORTER

Leave a Comment