11.3 C
Los Angeles
March 25, 2023
Image default
AmawulireEditor's PicksEssanyu

BA PASITA ABAWASA NGA BWE BAGOBA

‘’Omulabirizi anabanga n’omukazi omu yekka okutusa okufa’’ebyo byebimu kubigambo ebisangibwa mu kitabo ekitukuvu nga bisangibwa mu bbaluwa Paulo omutume gye yawandikira Timothy. Kyannaku okulaba ng’ate bannaddiini abandibadde babeera eky’okulabirako eri ebigambo ebyo ate n’eri endiga ze basuumba ate be bafuuse kyesitazzo eri abo bebasuumba.

SSEKANOLYA leero  akuletedde amawano mu balunda endiga za mukama, nga mubano abamu abakazi babakyuusa nga bikooyi, abalala ebiragaano by’okukumagana okutuusa okufa bakoma kubiyigiriza balala, bbo batambulira ku ngombo egamba kola kyenkugambye, tokola kyenkola.

 Babano abamu kubasumba abatateredde mu bufumbo bwabwe abanona n’okuwasa buli webagalidde.

JUDITH BABIRYE NE SAMWUEL NIIWO

Judith Babirye muyimbi wa nnyimba zediini ezikutte ennyo kubulamu bw’abantu, yaliko omubaka wa palamenti akikirira districti ye Buyikwe mu palamenti. Yali mubulizi wanjiri ng’ayita mu nnyimba ze era ebiseera ebimu yabuliranga ne bba Samwel Niiwo.

Ono yayawukana ne bba Samuel Niiwo gwe yali amaze naye emyaaka enna (4) , ng’amulumiriza nti yali tamulabirira bulungi, ng’amukuba emiggo n’okumukambuwalira ennyo.  Agamba nti Niiwo yalina ebbuba ppitirivu nnyo ng’ate mwenzi ekisusse. 

Ono lumu yagamba nti omusuba Niiwo obuvunanyizibwa bwe ng’omusajja yali tabutukiriza bulungi nga n’baana be tabalabirira. Bwe yayingira palamenti beyagala n’eyali omubaka wa monicipaali ye Njeru Paul Ssebulime gwe yamala naye emyeezi 17 ne bawukana era naddukira mu gwanga lya America gyali Kati.

PASITA DAVID KIGANDA NE HADIJA NASSEJJE

Ono ye nannyini kkanisa ya Christianity Focus Centre ne KTV  ebisangibwa mu Mukisenyi. Ono yayawukana ne mukyaala we eyasooka Hadijah Nassejje oluvannyuma lw’okumukwatira mu bwenzi n’omusajja Hussein Mukwasi, eyali omusiisi wa kyapati.

Kooti enkulu mu Kampala yakkiriza Kiganda okwawukana ne mukazi we Nasejje gwe yalinamu abaana abatano (5), Ono oluvannyuma yafuna omukazi omulala okuva mu Zimbabwe ayitibwa Cindy era ne bagattibwa mu bufumbo obutukuvu oluvannyuma lw’okufuna olukusa okuva mu kooti era ng’embaga yabwe yali mukibuga kya Zimbabwe ekikulu Harare.

NABBI SAMUEL KAKANDE

Ono yakulira ekkanisa ya church of all nation esangibwa kubbiri e mulago. Ono naye kigambibwa nti  yayawukana ne mukyaala we eyasooka  amannya ………… n’awasa omuwala Ono gwasibiddeko ekitonye kysbasinze okukysngabrko nds omukongo.

PASITA MELDA NAMUTEBI

Ono yakulira kkanisa ya Liberty worship Center esangibwa e Lugala. Ono abamumanyi ennyo mu kkanisa eno bagamba nti  ayawukana nnyo n’abasajja, kyokka yali yali asazeewo okunwerera ku bba Kula, wabula ekirwadde Kya covid-19 ne kimutwala gye buvuddeko. 

PASITA HENRY NYANZI

Pasita ono yakulira ekkanisa ya seeta Victory church esangibwa e seeta. Pasita ono yayawukana ne Nalongo we owempeta gwe yali amaze naye emyaaka abiri mwomusanvu (27) mu bufumbo obutukuvu. mu kwawukana, Nalongo yategeeza nti Nyanzi yali ayitirizza okuganza abawala abali bayimbira mu kkanisa eno. oluvannyuma lw’okwawukana, kigambiwa nti Nyanzi yayanjula onuwala eyali atera okuyimbira mu kkanisa eno ate nga musilikala.  

PASITA SAMUEL LWANDASA

ono yakulira ekkanisa ya mt.lebanon esangibwa e mukono. Omusumba ono yayawukana n’emukyalawe owempeta ………….mu 2002, n’awasa omukazi omulala Margret Lwandasa gw’ali naye kati. Kigambibwa nti ono yawagirwa nnyo abenganda ze okwawukana n’omukyaala kuba yali yazaala omuwala gwe yali yasooka okuganza kyokka ne bawukana, gwe yaxzako yali nyazakawe era bangi bamulemesa ne batuuka n’okumugoba ku kkanisa nga bagamba nti yali atta ekitiibwa ate n’okuswaza ekkanisa. Oluvannyuma yagatibwa ne Margreat gwalina kati. 

Abasumba abalala abaabadde battunka namaka kuliko Joseph sserwadda mu ndeeba ng’ono wadde awangaadde ne mukaziwe kyokka alina omukazi gw’e yasooka okuzaalamu abaana. Sserwadda yakulira ekkanisa ya victory christian church mu ndeeba.

Omusumba Irene manjeri owa bathelem healing church naye abinkana ne bba Katongole gw’e bamaze naye emyaka egisoba mu 20 nga kigambibwa nti bba yakwanayo omukazi omulala era ne manjeri yategeezezza ennaku ezo nti agenda kwefunirayo omulala.

Ye Samuel kakande owa Kakande ministries yakakyusa abakazi emirundi nga ena okuva ku babbi Luis, wuuyo awasizza Omucongo nga Kati alina mu philipino.

Omusumba Patrick makumbi  wekkanisa ya Global healing ministries international e lweza  eyasindikiddwa e Luzira olwamabanja naye abadde amegana na misango egyekuusa  ku kabawaza akawala wabula yagyiyitako.

Related posts

Omulabirizi Ssebaggala akubiriza abazadde okuzaayo abaana ku masomero.

OUR REPORTER

UTCL yeddiza kampuni y’essimu eya UTL

OUR REPORTER

Buganda ekungubagidde Nnaabakyala wa Bungereza Elizabeth II .

OUR REPORTER

Leave a Comment