24.2 C
Los Angeles
September 23, 2023
Uncategorized

Baagala Nansikombi agobwe ku kyalo lwa bufere

Omuwala kyakulassajja agambibwa okufuuka ekyetere ku kyalo kitebi ng’awemula, okulwana n’okuwaayiriza n’ebigendererwa by’okufera banne, abamu ku batuuze baagala agobwe ku kyalo. Teddy Nansikombi gwe bagamba nti yasooka mu bwa n’ekolera gyange ku Salaama Road ne Mona Lisa e Lubaga abatuuze gwe batiisizza okugoba mu kitundu. “Anaawuula entalo ku banne, ate bwe bamuloopa ku poliisi ng’agezaako okukulupya nti bamukubye, okutta obujulizi” bwatyo omu ku batuuze bwe yategeezezza.

Bino byonna biddiridde Nansikombi okuwalana mulirwanaawe Mbabazi nga kigambibwa nti y’amwegulako kyokka oli n’amwekengera. Omu ku ba LC yagambye nti Mbabazzi yabategeezezza nti Nansikombi kye yakoze kwe kutimba ebipande nga byonoona Mbabazzi nti, mubbi kyokka Mbabazzi bwe yagenze ku poliisi okuloopa Nansikombi naye kwe kuggulawo omusango ku poliisi endala nti Mbabazzi amukubye nga akozesa olukujjukujju. Poliisi ne ofiisi y’omuwaabi wa gavumenti mu Kampala batandise okunoonyereza. Nansikombi yabadde apanze bafunze Mbabazzi wakiri bamujjemu ssente. Kyokka ab’oludda lwa Mbabazzi olukwe baalulemesezza bwe beekubidde enduulu ku poliisi.

Waliwo ebigambibwa nti Nansikombi kano kakodyoke mwaferera abatuuze ng’abaggulako entalo ate oluvannyuma n’abeefulira, nga kati baagala agobwe ku kyalo nti abassusseeko.

Ssentebe wa LC yagambye nti olukiiko bwe lunatuula ensonga bajja kugisalawo. Abatuuze abalala basabye ayanikibwe ensi emumanye. Omusango gwa Mbabazzi gwe yaggula ku Nansikombi okumwoonoona n’okumutiisatiisa gwe babadde baagala okufutyanka guli ku fayiro nnamba SD09/15/05/2021 ku poliisi e Nyanama . Ebirala birinde.

Related posts

Photo Exhibit Puts Talents, Emotion On Display

vega

Google Pixel 2 Specifications & Features Revealed By FCC

vega

Interior Designer Crush: Richard Long of Long & Long Design

vega

Leave a Comment