11.9 C
Los Angeles
March 29, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Babakutte banyaga ssente za Gen Saleh

KibuliPoliisi ekutte abantu abasoba mu 9 nga kigambibwa nti babadde bagezaako okubba ssente okuva ku akawunta ya Gen Salim Saleh.Bano babadde bakozesezza kompyuta ne bayingira mu meyiro ya Genero ne balagira banka ya stanbic esasule abantu 4 ssente obukadde  43.Kyokka banka yabekengedde oluvanyuma lw’okukizuula nga tebadde nkola ya Gen Saleh okusasulira ku massimu kwe kumubuuza nabagamba nti abo bafere.Omwogezi w’ekitebe kyabambega ba poliisi, Charles Twiine yagambye nti abakwate nga beebabadde bannanyini ssimu ezaabadde ezokusaako ssente kuliko  Isima Katende, Mawejje Yahaya, Mukasa Tukiko, ne Ssemwogere Steven.Bano era baasangiddwa n’omututuuli gwa kaadi za ssimu ezigambibwa nti zebabadde bakozesa okubba abantu abawerako.Enziba yokulagira banka okusasula abantu oba okussa ssente ku ssimu ng’abafere beefuudde bannanyini akawunti ecaase ennaku zino.Poliisi yagambye nti waliwo n’abakozi mu makkampuni g’essimu agabaguza kaadi zino mu bukyamu abaakwatiddwa.

ReplyForward

Related posts

Omuzzukulu eyabula yeralikiriza jaaja we.

OUR REPORTER

Yiga okukozesa yintanenti okukola sente.

OUR REPORTER

Ebya Nambooze bibi, Bobi akamutemye.

OUR REPORTER

Leave a Comment