23.6 C
Los Angeles
September 23, 2023
Image default
Amawulire

Bakansala bagala okulira eddwaliro lya Mukono General Hospital anonyerezebweko kungeri gyeyafunamu ekifo

Bakansala bagala okulira  eddwaliro lya Mukono General Hospital anonyerezebweko kungeri gyeyafunamu ekifo. Bya Hannington Kisakye  

BA
 kansala abatuula ku kakiiko ke by’obulamu nenjigiriza mu  Kibuga Mukono bavuddeyo nga bagala akakiiko akagaba emirimu mu district  eno okuvaayo kannyonnyole engeri gye kawamu omulimu akulira ebyemilimu ku ddwaliro e ddene elya Mukono General Hospital Fred Wademe gwe bagaba nti teyayita mu mitendera. 
Okusinzira ku ssentebe wa kakiko ke by’obulamu nenjigiriza Doegratius Kayongo (Municipal social services committee) agamba nti okulondebwa kwe tekwagoberera mitendera mituufu era ng’asana ayimirizibwa mu bunambiro olw’oemitendera emituufu gigobererwe. “ Twagala okulondedwa kwa kulira ebyemirimu mu ddwaliro lya Mukono General Hospital kuddemu kutunulirwe mu bwangu ddala saako n’okuddamu okugoberera emitendera emitufu egitagobererwa nga bamuwa omulimu.” Bwatyo Kayongo bwategezezza. 

Mu alipoota ya kakiiko kano alaga nti okusizira kuteeka elifuga gavumenti y’ebitundu  chapter 243 ewa akakiiko ka district akagaba emilimu obuyinza okulonda omuntu okubeera mu kifo kyonna mu district oba mu kibuga, omuli n’obuyinza okukakasa, okukwasiza empisa saako n’okujja omuntu yena mu ofiisi  (The petition reads in parts. The Local Government Act-chapter 243 gives the district service commission powers to appoint a person to hold or act in any district office or urban council, including the power to confirm appointments, to exercise disciplinary control and to remove those persons from office.) 

Wabula kunsonga y’okuyingiza omukozi yenna mu ebyenjigiriza oba eby’obulamu , akakiiko kano kabeera kasanidde okugoberera emitendera kakiiko ke byenjigiriza akagaba emilimu oba ake by’obulamu (Education Service Commission or Health Service Commission).

Nga wanno akakiiko kabeera kalian okulaga omulimu gunno nga tekanaba okulonda muntu okubeera mu ofiisi eno. Kansala Mike Ssegawa akikirira  Ggulu ne Ngandu award ku lukiiko lwe kibuga kino nga naye atuula ku kakiiko kano  agamba nti waliwo okuyisamu olugayu mu mitendera gino, nga tewali kulaaga kwonna kwakolebwa nga kati banno bagala ekifo kino kifunibwemu omuntu omutuufu ate nga nemitendera

gigobereddwa. “ Ffe kyetwagala kiri kimu akakiiko ka district aakagaba emilimu kaveeyo katulage ekiwandiiko kyonna oba ekirango kyonna kyebayisa mu mawulire nga balaga omulimu gunno oba ekiraga okulondebwa kwe mu kifo kino.” Bwatyo Ssegawa bwakatiriza 
 Ono mu mungeri yemu agenze mu maaso nategezza ng’okusika omugwa okuliwa kati wakati wa district ne kibuga Mukono kwani alina obuvunanyizibwa kiviriddeko milimu okugotana saako n’abasawo obutafuna mpereze yabwe mu budde nga nabo kibaviriddeko okubutatuusa mpereza ya mulembe ku bantu. Wabula ye ssentebe wa kakiiko akagaba emilimu mu district ye Mukono Hajjat Hasifah Ssebunya bwatukiriddwa  ategezezza nga bwatalina kyasobola kowgera bwatyo najjuliza akulira abakozi mu district. Wademe yatekebwa mu kifo kifo makati ng’omwaka gunno  ng’ono yali wa ggombolola e Nama.

Bino we bigidde nga govementi  yakamala okuwa eddwaliro lino akawumbi 1.2 nga zigenda okuyamba okusasula emisaala gya abakozi mu ddwaliro wamu no okutambuza emirimu gyaalyo.Okusinziira  ku Ssentebe  wa disitulikiti eno Rev. Petter Bakaluba Mukasa yategezezza  nti kati eddwaliro limaze okufuna sente ezimaala okusobola okusasula abakozi baalyo era nasaba bakasala ku disitulikiti  okuwagira ekiteeso ekyo okuteeka  mu ddwaliro lino awajanjabirwa aba sente basobole okulogosa embeera za abasawo.Wabula wakyaliwo ebiranyi wakati wa disitulikiti  ne municipaali  ku anni.avunanizibwa ku ddwaliro lino.newankubadde minisitule  ye ebyobulamu yali.kwasa disitulikiti  y’eMukono. 
Dr . fred wademe akulila edwaliro lya mukono general hospital ayogerwako bakansala

Related posts

Kooti eragidde Besigye ne Mukaaku abalabako abakwate

OUR REPORTER

Leero amatikkira ga Makerere University  wegatandise .

OUR REPORTER

Alina amagezi = ne Matovu joy

OUR REPORTER

Leave a Comment