Poliisi y’e Nateete ekutte n’eggalira bakkansala ababadde bakulembeddwa Faridah Nakabugo Faridah atuula ku KCCA ewa Loodi Mmeeya ng’ono abadde ayise bakkansala basatu okutema empenda ku bukulembeze bwa NUP obwa wansi.
Poliisi okuva e Nateete ng’eduumirwa OC waayo Hassan Ssekalema, etuuse mu kifo ku Mackay Road, ku wooteeri emu we babadde bakung’aanidde okubannyonnyola emirimu gy’ekibiina gye bagenda okukola.
Poliisi etuuse bano ne babuna emiwabo kyokka abatasobodde kudduka abataano ebakutte ne bakkansala baabwe n’ebatwala ku poliisi e Nateete gye bakuumirwa kati ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso.

Kkansala Nakabugo ategeezezza nti olukung’aana lwe babaddemu terumenya mateeka kubanga ne NRM nayo etuuza enkung’aana ezifaanana bwe zityo era poliisi tegikwatako.
Yayongeddeko nti bo babadde bagenda kulonda bukiiko bwa wansi obugenda okutambuza emirimu gy’ekibiina kyabwe mu ggombolola y’e Lubaga mu Kampala.
Akulira poliisi y’e Nateete, Ssekalema Hassan ategeezezza nti bakkansala bano tebaagambye ku poliisi nti bayina olukung’aana lwe bagenda okutuuza mu kifo kino era nti abantu be baabagulizzaako nabo kwe kusitukitamu okugenda okuzuula ekituufu kye baabaddeko.
Yagambye nti bagenda kuggulwako emisango egy’okukuba enkiiko ezitali mu mateeka era bagenda kuggyibwako sitatimenti ng’okunoonyereza bwe kugenda mu maaso basobole okuzuula ekituufu kye babadde baliko.