Wabaddewo olutalo mu kanso y’e kira bakkansala bwebakoze olutalo nga bawakanya akalulu k’obukiikko kebabaddemu mu kulonda ba ssentebe abagenda okukulembera obukikko okusobozesa okutambuza emirimu gya Muniscipalite obulungi mukisanja kino nga okukola olutalo kivudde kukuba kalulu kyokka webatuuse okubala bakizudde nti obululu businze ennamba ya bakkansala abetabye mu kulonda nebatabuka
Bakkansala bagamba nti bali 79 abalonze ekifo kya social services ekibaddemu kansala Sumah Nakiwala ne Aisha Nansuubuga nga gyebugweredde nga Nasubuga alina 44 aye Nakiwala 36 numuyitamu akalulu kamu ekileesewo olutalo mu bawagizi ba Nakiwala nga bawakanya akalulu akayisemu nga bagala kuddibwemu kyokka nebabakakanya oluvannyuma lw’okuyiwa abaserikale ababadde bakutte emmundu nebebulungula kanso olwo sipiika Ssemukuye nalangilira Nansubuga ku buwanguzi.
Abalala bebalonze kuliko Siraje Sembuze Lutaaya kubwa ssentebe wakakiko k’ebyensimbi, , Henry Kakembo ssentebe wa Works kyokka obukikko gyebugweredde nga NUP esinza bakansala abangi bagitute obukikko bwonna.
Meeya wa Kira Julius Mutebi agambye nti ebibaluwa bibatadde ku bunkenke kubanga waliwo abasawo bebalumbye nebabatema kyoka era waliwo ebyalo okuli Namugongo Nsawo, Gyanda ,nebitundu ebirala nasaba securite eyobgere amanyi mu bikwekweto okufuuza abantu abagenda nga abasuuka ebibaluwa kubanga obubaka bwebateeka ku bipapuka bino byantiiisannyo.
Mu kaso eno meeya Mutebi alangiridde kabinenti ye gyagenda okukola nayo nga Rashidah Nanyonga Musoke owa (NUP) akikilira Bweyogerere ku Munisipalite amulonze ku ky’omumyuka we, minisita w’ebyensimbi alonze Shamim Nalwanga (DP) ate David Muya Ssekiziyivu (FDC) ku bwa production and Natural Resources bano abakuutidde okukola enyo basobole okutumbula Kira bamuwanike waggulu.
Mutebi agambye nti wadde wabaddewo olutalo mu kulonda ebifo naye basobodde okuzigojoola embeera neterera nga kino kivudde nti bbakansala bakyali bapya naye gyebaneyongera bagya kuyiga entalo wezityo zikome
Sipiika wa Kira Frank Ssemukuye yenyamidde olw’obucaafu obusukiridde mu bitundu bya Kira okuli siteegi za boda boda, takisi , ne Namboole abantu gyebakolera dduyiro ku makya n’olwegulo nti ebifo bino tebilina kabuyonjo abantu beyambira mu nsiko ekiyinza okuvaako enddwadde ezekuusa ku bucafu nasaba abakulu webeewo ekikolebwa watekebwewo kabuyonjo okutaasa ekimanso kazambi mu bitundu.
