A |
balambuzi okuva mu Middle East bamalirizza okulambula kwe babaddeko okwa wiiki mu bitundu eby’enjawuulo mu ggwanga okuli; Bwindi Impenetrable wamu ne Queen Elizabeth National Park ng’ omu ku kaweefube w’okulaba nga baagazisa abantu abalala ebyobulamubuzi mu Uganda .
Bano abalambuzi abeegattira mu kibiina kya Aviareps okuva mu Middle East nga bawerera ddala abantu mukaaga okuli; Glenn Johnston , Mehboob Rehman , Gitesh Inamdar , Swapna Shabeer, Solomon Davis wamu ne Harue Oki balambudde ebifo bino ne bavaayo nga batendereza obulungi bwabyo .
Glen Johnston nga yakulembeddemu abalambuzi bano agambye nti ‘‘musanyufu nnyo okuba nga basobodde okukyalako mu Uganda ne balaba ebintu ebyenjawulo ebirungi okuli amazike, enkima, ebinyonyi ebyebika ebyenjawulo 600 n’ebisolo ebirala bingi era nti baakusikiriza abalambuzi abalala bangi okujja okulambula ebifo bino,’’ bwe yagambye .
Ono agambye nti Uganda erina ebyobulambuzi bingi ebirungi naye waliwo abatabimanyi naddala abatafunangako mukisa kukyalako mu ggwanga lino noolwekyo baakwogera birungi ku ggwanga Uganda kisobole okusikiriza abalambuzi abalala.
Asabye Bannayuganda okwongera okulabirira obulungi ebifo bino wamu n’okwongera okubikulaakulanya obulungi wamu n’okubyagazisa abalambuzi nga bayita mu nteekateeka emanyidwa nga Explore Uganda kw’ossa n’ekitongole ky’ebyo bulambuzi mu ggwanga ekya Uganda Tourism Board .
Daniel Irunga, kitunzi mu kitongole kya Uganda Tourism Board agambye nti abalambuzi bano okuva mu Aviareps bazze mu kiseera nga Uganda yaakatongoza enkola emanyibwa nga Explore Uganda era nti ensi za Buwarabu nnungi nnyo okuyambako okutunda ebyobulambuzi bya Uganda n’olwekyo baakusigala nga bakwatagana bulungi.
Akubirizza abantu okulambula eggwanga lino kubanga mulimu ebyobulambuzi bingi nnyo ate bafeeyo okulyagazisa abantu .