14.3 C
Los Angeles
April 2, 2023
Image default
AmawulireEssanyuFeatured

Bannayuganda abawangaalira ebweru  Nnaabagereka aba tegekede Ekisaakaate.

Obwakabaka bwa Buganda nga buyita mu kitongole ki Nnaabagereka Development Foundation (NDF) butegekedde  bannayuganda abawangaalira ebweru ekisaakaate okwongera okubangula abaana ku  nnono n’obuwangwa bwabwe mu nteekateeka y’okubanyikizaamu obuntubulamu.

Kino kyakibikuddwa Minisita w’enkulaakulana y’abantu awamu ne woofiisi ya Maama Nnaabagereka, Dr. Prosperous Nankindu Kavuma bweyabadde ayogerako ne bannamawulire ku Lwokubiri e Bulange Mmengo mu Kampala.

Owek. Nankindu yagambye nti Ekisaakaate kino kigenda kuyindira Boston mu Amerika okuva nga 8/08/2022 okutuuka nga 13/08/2022, wansi w’omulamwa ogugamba nti, ‘Obuntubulamu mu bikolwa byo’ era Nnaabagereka Sylvia Nagginda yagenda okubeera omubanguzi omukulu.

Okusinziira ku Minisita Nankindu,  baagala okutumbula obuntubulamu mu bantu nga babazaamu ensonyi, empisa, amazima, okufa ku balala, Bulungibwansi, okweyimirizaawo, obuvunanyizibwa, obwerufu, obwesimbu, obukulembeze obulungi n’ebirala n’asaba abazadde okubakwasa abaana babagunjule.

Owek. Nankindu yannyonnyodde nti abaana abaneetaba mu Kisaakaate kino bagenda kufuna omukisa  okwenyigiramu obutereevu mu bikolebwa kuba bagenda kuba balabwe bwebayiga era bakole okukakasa byebayize.

Enteekateeka eno egenda kuyindira mukifo eky’ekkanisa ekimanyiddwa nga Dominion Assemblies International Ministries esangibwa ku Singing Hills Christian Camp esangibwa ku 71 King Drive, Plainfield NH03781 mu Amerika nasaba abazadde okwanguwa bawandiise abaana.

Kinajjukirwa nti Ekisaakate kino kyatandikibwa mu 2007 era nga abaana abamanyiddwa nga Bannaliyo abali eyo 35,000 era nga kiwagira ekitongole ki Nnaabagereka Development Foundation awamu n’Obwakabaka bwa Buganda.

Related posts

Poliisi etandise okunoonyereza ku ngeri Asikaali e Magere gyeyalumbiddwa.

OUR REPORTER

Owek. Kawaase alambudde ab’e Mubende ku ebola.

OUR REPORTER

Kitalo! Abafamire 5 bafiiridde mu muliro e Bukasa.

OUR REPORTER

Leave a Comment