Bannayuganda basabiddwa okukomya okutaputa kifuulanenge ensonga z’ebyobulamu wabula bawe amakulu ebiragiro byabasawo ne Minisitule y’ebyobulamu bweba bakyagala okubeera abalamu.
Bino byogeddwa Katikkiro w’Ebyalo bya Kabaka Omuk.Moses Luutu bw’abadde atikkula Banassingo Amakula ga Ssaabasajja mu Lubiri e Mmengo ku Lwokusatu
Omuk. Luutu agambye nti bannayuganda baagala nnyo okugendera ku ng’ambo nebalemwa okunoonya ekituufu okuva mu bakugu kyagamba nti kubeera kuteeka bulamu bwabwe mu matigga.
Omuk. Luutu abawadde amagezi mukiseera kino nga ebyenfuna by’eggwangq byewanise okukomya okwekubagiza wabula beeyambise obuyiiya okutondawo engeri gyebasobola okutambuzaamu emirimu basobole okuvvunuka embeera eno.
Ye Omwami wa Ssaabasajja ow’eggombolola ya Ssaabaddu Kasanda Alex Sserukenya nga yakulembeddemu abaleese Amakula yeebazizza bannassingo olw’ okutuukiriza ennono y’okuleeta Amakula.