Abatuuze b’e Busega ku kidda e Masanafu nga ewa Butcherman bakeeredde mu ntiisa bwe basanze omulambo gw’omukazi nga gusuuliddwa ku mabbali g’ekkubo ku Northern Bypass enkya ya leero.
Gubadde bute nga tegulina kagoye konna era kiteeberezebwa nti omugenzi baasoose kumusobyako n’oluvannyuma ne bamutta.

Abatuuze mu kitundu be twogeddeko nabo bategeezezza nti ettemu n’okusobya ku bakyala mu kitundu kyabwe bisusse bwe batyo ne basaba gavumenti okuteeka kkamera ku luguudo lwa Bypass zisobole okulaba wansi kubanga abantu bazeeyambisa okukola ebikolobero nga tebatya kubanga tewali abeera abalaba.
Poliisi okuva e Nateete ng’eduumirwa OC waayo Hassan Ssekalema etuuse mu kifo kino era we tusakidde bino nga balinda mbwa ya poliisi erawune ezuule abatemu abaakoze ekikolwa kino mu kitundu kino.