Abatuuze batwalidde amateeka mu ngalo bwe bakkakkanye ku bantu ababadde batambuliza embizzi mu mmotoka ne babakuba omu ne bamutta.
Emmotoka nayo bagikoonye ne bagyonoona ng abwe babalumiriza nti be bamu ku babadde babba ebisolo ku kyalo kyabwe ekintu kye bagamba nti kizizza nnyo ebyobulunzi emabega.
Ekisinze okubatabula ku bakwatiddwa kwe kubaako omuvubuka Omusiraamu. Basoyezza ebibuuzo era gye biggweeredde nga bamukubye ne bamutta.

Bino byabaddewo mu kiro ekyakeesezza ku Lwokubiri ku ssaawa 8:00 ku kyalo Kisu mu Division y’e Kawolo Lugazi Municipality mu disitulikiti y’e Buikwe.
Omugenzi Awali Wookulira abadde mutuuze w’e Ssugu mu Gombolola ya Buikwe Rural mu disuitulikiti y’e Buikwe ate munne asimattuse okufa ye Paulo Mukasa ow’e Kasokoso Kiganda mu Wakiso.
Sentebe w’ekyalo Kisu, John Kikonyogo agambye nti ku ssaawa 8:00 baawulidde enduulu ne basituka. Baabadde bakyewuunaganya ne babategeeza nti waliwo ababbi b’embizzi be bakutte.