24.2 C
Los Angeles
September 24, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Bassereebu Uganda bekalubiridde nebaddukira kukyeyo.

Mu kusooka Abazuugu baakozesanga kifuba okutwala Abaddugavu mu mawanga gaabwe gyebaabakozesanga  ng’abaddu.

Gyebikkidde ng’Abazuugu kati bakolagana na bakulembeze okulaba engeri gye bayinza okutangira abaddugavu abaasooka okugaana okugenda mu mawanga gaabwe kyokka nga kati bui omu ge yeeyuna.

Ekisinze okutabula embeera y’engeri basseereebu gye bakiwunzise nga be basinze okuddukiri ku kyeyo mu mawanga g’Abazuugu oba lwakuba bo bamanyiddwa nnyo

WAMMANGA BE BASSEREEBU ABAAKAGENDA KU KYEYO MU BAZUNGU

STECIA NAYANJA

Ono yagenda Canada omwaka oguwedde nga yagenda kumujjanba, wabula ng’ate omunenya ki?

N’ekibiina kye yali ayimbiramu  ekya gaolden band kiri ng’ ekitakyayimba ate nga naye akyegobyemu.

Ekyewuunnyisa abangi mpozzi y’engeri gye yali atandiseewo ekintu kye ekya Stecia  Mayanja and  the house girl ne kikwatayo ng’azannya emizannyo egiragibwa ku ttivvi ne Youtube nga n’abantu batandise okubyagala kyokka n’abulawo.

FYONA KIRABO

Yali akola ku pulogulaamu ya Muvubka  weeyogerere ku Bukedde TV1.

We yagendera e Nigeria ng’asseemu  oluvannyuma lw’okuva ku mpewo olw’okufumbirwa.

Amaanyi  ge yagalagira mu kuwagula engule omwali Best dressed femal TV personality mu 2024 mu mdaka ezaatumibwa A Bryan’s style and fashion awards.

Yavuganyaako ne ku ngule ya Best Entertainment femake TV presenter eza Uganda Entertainment awards.                          

Emirimu gye emirala mwali,u okukola makeup.

Kigambibwa nti yaganda Nigeria kuzannya firimu.

KAPALAGA BEIBE    

Amannya amatuufu ye Micheal Katende eyali akola olugambo ku leediyo Simbi lwe baayitanga Wolokoso.

Mu kiseera kino ali mu Amerika ebya Wolokoso yabivaamu akuba kyeyo  mpozzi n’okuyimba mu ssaza ly’e Massachusetts mu kibuga Boston.

JULIE ANGUME  

Ono olwafumbirwa Sam Ssekajugo mu butongole obulamu bwe bwakyukira ddala.

Wadde nga Ssekajugo yalemwa okubeerawo nga Julie amwanjula n’ayanjulamu ekifaananyi ku mukolo ogwalui e Kiboga, omukolo olwaggwa, Julie n’alumba Kabiite we e Netherlanda gy’akolera era we twogerera ng’ebya Uganda awulira biwulira.

Yasooka n’agendayonmu 2021 bwe yaddayo mu 2022 teyakomawo na kati ali ku bufumbo akakalabya.

NABBI OMUKAZI

Eby’ono bibuzaabuza kubanga yalabibwako mu Amerika mu ssaza ly’e California mu September w’omwaka oguweedde.

Okukomawo kwe tekunnamanyika kubanga buli yebuuziddwa tamanyi ky’aliko  ate nga n’essimu ye  teriiko kutegeeza watuufu waali.

BILLY KATUMBA KASODDE

Ebya  Kasodde bw’obeera ggwe bya yakoleranga ku CBS ne bw’obimujjukiza oba ng’afuuyira endiga omulere ku kasente kaa;I mu kukola mu kibuga Johannesburg ekya South Afrika.

Kasodde muyimbi era n’eyo gy’egimu ku mirimu gy’akola.

Amazeeyo emyaka ng’ebiri okusinziira ku baatuwadde amawulire gano abatera okumulabako mu kibuga Santon.

MOSES WALUGEMBE

Ono yali musomi w’amawulire Agataliiko Nfuufu ku Bukedde ttivi.

Bwe yakyalako e Netherland n’agamba nti kakubye.

By’akola tebimanyikiddwa kyokka ekituufu kiri nti yagenda mu 2022.

ERIMIA MASEMBE

Yali kansala wa Makindye West 111 naye ali mu Amerika gye yagenze  gye buvuddeko.

Era kigambibwa nti abantu be abaamulonda beebuuza aniabakiikirira kubanga mu kugenda  teyasooka kubasiibula era abamu tebamanyi nti kkansala waabwe gwe beerondera yabasuulawo dda, kati akwata ssente nzuugu.

JAMIRA KALUNGI   

Ekyali mukyala wa Chris Evans ne bamumupakulako , naye 2022 yagenda  mu Amerika, era ng’ennyonyi ya 2022, nga yaganda ne bbebi we gweyazaala mu bba omupya , Fahad Kulumba abeera e Boston.

Ku nkomerero y’omwaka oguwedde  Jumira yazaalidde kulumbe omwana omulala.

Mu Amerika azannya katemba kw’agatta ebirala mw’aggya ssente.

CANDY MUTESI  

Ono yali wa ssente mu Kampala, era olw’okuba muwala alaboika bulungi , bangi abamugoberera ku mikutu gya Social Media ‘. Yali nfanfe wa Don Zella.

Yagenda mu Amerika mu 2017 na kati takomangawo.

BASEREEBU ABALALA ABALI KU BYEYO;

Omukubi w’ebikonde Justin Jjuuko

Ababeera mu kibuga Las Vegas mu ssaza ly’e Nevada mu Amerika.

Julie Mutesasira

Ali e Canada n’abaana be ababiri.

Gen.Mega Dee ne Menton Krono.

Bwe baayimba mu Gulu teriiyo mwenge bali Amerika mu ssaza ly’e California.

Mega Dee yakuguka mu by’okujjanjaba emitima {Cardiovadcular Technician},asula North  Hollywood, California.

Desire Luzinda

Abeera mu Amerika naye  gy’akola ogw’obusawo gwe yasomerera.

Mary Flavia Namulindwa

Abeera Amerika akyakola by’amawulire nga bye yakolanga e Uganda.

Akola ku mukutu gwa yasomerera.

Charles Bukenya Mamulindwa

Eyali kazanyirizi wa leediyo Simba omu ku baatandika ebya Bizonto, ali mu Amerika azannya mizannyo, okugiwandiika n’okugitedeka banne.

Jeniffer Kabanda

Yali munnakatemba wa Afri Talent kati abeera Amerika gye yasomera eby’objjanjabi  mwe yasooka okufuna satifikeeti kati  alina diguli era musawo.

Ivan lukwago

Yali maneja wa David Lutalo bwe baagenda ku kivvulu e Canada mu 2021 teyakomawo.

Ronnie Banton

Eyayimba Kawuna ali Amerika .

Don Zella

  Omuli wa ssente ono naye  abeera mu Amerika.

KARITAS KARIO

 Kye yakola ekimujjuirwako lwe luyimba Njagaza kajanja lwe yakola ne Ronaldi Mayinja mu bbandi ya Golden.

Yayogerwako bingi nga bwe yali atabudde obufumbo bwa Mayinja kyokka ng’agamba si bituufu .

Gye byakkira ng’ali kati.

Akyayimba  kw’aggatta gy’ali kati.

Akyayimba kw’agatta okuzannya katemba n’emirimu emirala.

SELECTOR WILLIAMS

Ono amannya ge amatuufu ye Williams Mukisa.

Abadde mukozi wa leediyo Sapientia olumu ng’akola nga blogger.

Mu kiseera kino ali mikutu gya social media akyakikola naddala ku nsonga z’abayimbi n’ebigenda mu maaso  ku by’ekisaawe ky’ebyamasanyu mu Ugaanda.

DJ MESSE

 Ono amannya ge amatuufu ye Nicholas Mpiirwe.

Okutuuka mu September omwaka oguwedde we yagendera mu Amerika, abadde mukozi wa leediyo Super.

Mu kiseera kino ali mu Amerika gye yagenda omwaka oguwedde ku mirimu egy’enjawulo.

DJ.Messe yayatiikirira bwe yali azannya mu  Amarula Family e Amooti Omubalanguzi n’omugenzi Paddy Bitama.

BASEREEBU ABALAALA ABAAGENDA KU KYEYO

 PAUL JJINGO

Yali munnakatemba wa Ebonies n’agenda e Canada gye yava  okudda  mu Amerika.

RABADABA OMUKYAMU

Amannya amatuuufu ye Faisal Sseguya eyawasa Nnaalongo Maggie  Kayima, namwandu w’omugenzi AK 47 ne bagenda e Bungereza.

HARRIET NALUBWAMA NAKAWUNDE.

Nalubwama  eyakazibwako  erya Nakawunde abeera Bungereza gye yagenda mu 2002.

Nakawunde yayatiikirira mu myaka gy’ekyenda olw’okuzaannya mu muzannyo aba Ebonies naddala ku UTV.

KATONGOLE OMUTONGOLE

Eyali omukozi wa Beat FM ng’omu ku bamaneja aweereza ne ku mpewo ali Boston mu ssaza ly’e Massachusetts mu Amerika.

DRE CALI

Yali muyimbi wa Ykebenda bwe yagenda e Canada n’abinnyika mu nsuwa eby’ekibiina kye Mpaka Records n’abirekera mukamawe.

UTH WANNYANA

Yali mukyala wa John Ssegawa  kati abeera Amerika mu ssaza ly’e Colorado.

CHARLES OIMKE

Eyali bba wa Straka Bibe bwe baali bakola ku WBS ttivi kati abeera Amerika Gy’akolera obwaa DJ n’emirimu emirala.

GRACE SSEKAMATTE

Yali muyimba mu Golden band kati abeera Boston mu Amerika gye yagenda mu 2019.

Akyayimba n’okuzannya katembe.

LATIFAH SSENYONDWA

Eyali mukyala wa Joel Isabirye omukulu ali mu Amerika gy’azannyira Ebinnayuganda kweagatta emirimu  emirala.

Ono yali akola pulogulaamu ya Big Deal KU NBS  ne Ssenga Justin Nantume.

ANGELLA KALULE

Omuyimbi wa KatiktiKI yagenda 2018 mu Amerika gye yasomera eby’obusawo by’akola kati.

DOREEN MUTIIBWA NE MICHEAL KINNE

Baali abayimbi ba Golden band mu March 2018 ne bagenda e Bungereza gye baalemera ne beewasiza ddala kyokka ku mirimu emirala bakyagattako ogw’okuyimba.

PASITA GEORGE OKUDI

Ye yayimba Wipolo olwamuwanguza engule ya Kora Award e South Afrika mu 2003.

Yagenda mu Amerika  mu ssaza ly’Maryland gy’abeera.

ROY KAPALE

Yali mu bbandi ya Kato Lubwama eya Diamond Production, kati  ali mu Amerika mu ssaza ly’e Chicago.

Ono ye yasooka okuba bba wa Rebecca  Jjingo.

ABAS MUBIRU

Yali bba wa  Stecia Mayanja eyakwatibwa olw’okusindika ssente ku mobile money nga tazirina olwava e Luzira yasbira Dubai.

Related posts

Ssabasumba Dr. Kasujja asabye bannayuganda obutasaagira mu byabulamu.

OUR REPORTER

Owek. Mayiga yakuutidde bannabitone obutava ku mulamwa.

OUR REPORTER

EKamuli abayizi b’essomero bekalakaasizza – 20 bali mu kkomera

OUR REPORTER

Leave a Comment