23.6 C
Los Angeles
September 23, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Batongozza ebikujjuko bya jubileewo ey’emyaka 100 egya seminariyo.

Abakristu bikumi na bikumi beeyiye ku Seminariyo ya Yozefu Omutuukirivu e Nyenga, mu disitulikiti y’e Buikwe, okwetaba ku mukolo gw’okutongoza  ebikujjuko bya jubileewo y’emyaka 100 egya Seminario eno.

Omukolo gwatandise ne Mmisa ey’okwebaza, eyakulembeddwa Omwepiskoopi w’essaza ly’e Lugazi, Christopher Kakooza ng’ayambibwako Viika Genero we, Munsennyooli Richard Kayondo, n’Abasaserodooti abalala bangi.

Bwe yabadde ayigiriza mu Mmisa, Omwepiskoopi Christopher Kakooza yasabye Abakristu okuwagira ennyo Seminariyo eno esobole okutwala mu maaso obutume bwayo obw’okutendekera Klezia Katolika Abasaserodooti.

Yasabye Abakristu okwettanira obufumbo obutuku, n’okutereeza amaka gaabwe, kubanga amaka agatuukiridde ge gavaamu Abasaserodooti, bannaddiini, n’abantu abagasa Klezia n’ensi. 

Yasabye n’abazadde okwagazisa abaana baabwe ekkula ly’Obusaserodooti n’Obunnaddiini.

Minisita avunaanyizibwa ku byenjigiriza ebyawaggulu, dokita John Chrysostom Muyingo eyabadde omugenyi omukulu, yasabye abakulembeze ba Klezia okukola enkyukakyuka mu bintu bye basomesa Abaseminariyo, bisobole okukwatagana obulungi n’enkulaakulana y’ensi.

Yanokoddeyo ssaayansi w’ebyuma bikalimagezi nga erimu ku ssomo eriteekeddwa okusomesebwa Abaseminariyo ab’omulembe guno ogw’omutimbagano.

Akola ng’Omukulu wa Seminariyo eno, Faaza Francis Kyazze yategeezezza nti balina enteekateeka ey’okumaliriza ekizimbe ky’ekijjukizo kya jubileewo ate n’okuddaabiriza era n’okugaziya ebizimbe bya Seminariyo kubanga omuwendo gwa Baseminaliyo gweyongedde kyokka byo ebizimbe ne bifunda.

Seminariyo eno yagunjibwawo Omwepiskoopi John Henry Mary Biermans, ow’ekibiina ky’Abaminsane aba Mill Hill, mu 1924. Mu myaka 100 gy’emaze, efulumizza Abasaserodooti, Abeepisikoopi, n’Abakristu abeerere bangi abagasiza ennyo Klezia n’ensi eno.

Abeetabye ku guno baasonze ensimbi ez’okudduukirira enteekateeka z’ekijaguzo ekijja okubeerawo omwaka ogujja.

Related posts

30 Bbaffu, abasoba mu 20 bali bubi, Bus ya link egudde kuluguudo lw’e Fortportal – Kabalore

OUR REPORTER

E Ssese aba Rotary bazimbidde abeetaavu amayumba.

OUR REPORTER

Eyabba ssente za Mukama we obukadde 15 bamukalize emyezi 20.

OUR REPORTER

Leave a Comment