14.3 C
Los Angeles
April 2, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Baweze 33 abafiiridde mu kabenje ka bbaasi e Kenya.

33 bebaakafa mu kabenje ka  bbaasi ye Mombasa Kenya eyagudde mu mugga Nithi ku luguudo lwa Meru –  Nairobi Highway ku Ssande.

Ku makya ga mmande ,Kamisona w’essaza lya Tharaka Nithi, Nobert Komora alangiridde nti abaakafiira mu kabenje kano baweze 33 ate 10 bakyanyiga biwundu nga Gavumenti ekola ekisoboka okutaasa obulamu.

Akabenje kano kaaguddewo ku ssaawa 12:40 ez’olweggulo lwa Ssande , nga bbaasi eyabadde eva mu kitundu kya Maua, yawamattuse ku lutindo n’egwa wansi mmita nga 40 ne yebbika mu mugga Nithi.

Kamora agambye nti okunoonyereza kwe baakakozeewo kulaga nti bbaasi yalemeredde ddereeva bwe yagaanyi okusiba mu kkoona ezzibu ennyo erri ku lutindo lwa Nithi Bridge kwe kuseerera n’ekka.

Obubenje obwefaanaanyirizaako kano  bugwawo mu kifo kino buli mwaka.

Related posts

LOCKDOWN BRIGHT NEWS AS 20 YOUTH GAIN MILLIONAIRE JOBS AT THE BLACK WALL STREET.

OUR REPORTER

GAVUMENTI ESENGUDDE OMUTENDERA OGW`OKUSATU KU BAAKOSEBWA ETTAKA E BUDUDA

OUR REPORTER

Tetujja kulekulira – NSSF.

OUR REPORTER

Leave a Comment