21.6 C
Los Angeles
September 26, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Bbaasi zitomeraganye, 6 bafudde ate 30 bataawa.

Ebitalo ebirala bigudde ku luguudo oluva e Rukiga okudda e Mbarara ku makya galeero oluvannyuma lwa bbaasi bbiri okutomeragana nezitta abantu 6 ate abasoba mu 30 nebaddusibwa mu ddwaliro nga biwalattaka.

Poliisi etegeezezzza nti akabenje kano kaguddewo ku ssaawa 10 nga bukya okuliraana wooteri ya Satelite ze Kiromita nga bbiri okuva mu katawuni ke Muhanga mu disitulikiti ye Ntungamo.

Akabenje kano kabaddemu bbaasi ya Volcano nnamba RAD 798B ebadde eva e Rwanda awamu neya Kampuni ya Oxgyen namba KCU 054L  nga eno ya ggwanga lya Kenya.

Abafunye ebisago Poliisi nabadduukirize babaddusiddwa mu ddwaliro lya Lotom e Muhanga okusobola okutaasa obulamu bwabwe.

Ayogerera poliisi mu bitundu bino, Elly Maate annyonnyodde nti mu bafiiriddewo kuliko baddereeva ba bbaasi zombi era nga abalala abafudde tebanategeerekeka mannya wabula bakuwufulumyawo ekiwandiiko ekitongole nga ebibakwatako bizuuse.

Maate agasseeko nti bateebereza nti akabenje kano kavudde ku mbeera ya budde kubanga kalenge abadde mungi nga yalemesezza abagoba okulaba gyebabadde balaga olwo nebatomeragana.

Related posts

Agambibwa okubba abakkiriza mu kkanisa ez’enjawulo bamukutte.

OUR REPORTER

Owek. Kawaase alambudde ab’e Mubende ku ebola.

OUR REPORTER

JOY AS FORTEBET SAYS THANK-YOU TO ISHAKA, KABWOHE, IBANDA, KAMWENGE PUNTERS

OUR REPORTER

Leave a Comment