9.9 C
Los Angeles
March 29, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Besigye asabye wabeewo ebikyuukamu ku ngeri enguudo za Uganda gyezizimbibwamu.

Dr Kizza Besigye asabye wabeewo ebikyuukamu ku ngeri enguudo za Uganda gyezizimbibwamu okusobola okukendeeza ku bubenje obutuukawo ku nguudo ez’enjawulo naddala mu biseera nga bino ebyennaku enkulu.
Besigye era ayagala abakwatibwako ensonga z’ebyentambula n’enguudo babeere bakakkali ku ngeri baddereva gyebakakasibwamu nga tebanakkirizibwa kugenda ku nguudo era n’ emmotoka zekebejjebwe.
Ono agamba nti kyewunyisa okulaba nga abantu abafiira ku nguudo mu bubenje basinga abafiira mu ntalo n’obutabanguko obulala nasaba wabeewo ekikolebwa mu bwangu.
Kino kiddiridde obubenje okweyongera nga akakyasembyeyo keeko akagudde e Kayabwe Kibukuta ku luguudo oluva e Kampala okudda e Masaka omwafiridde abantu abasoba mu bataano n’abalala nebaddusibwa mu ddwaliro nga bataawa.
Gyebuvuddeko minisita w’ebyentambula Gen Katumba Wamala yategeezezza bannamawulire nga bwebafunye obubenje 360 mu nnaku 8 nebufiiramu abantu abawera 83 omwabadde n’omubaka wa Serere Patrick Okabe n’omukyala abaafa ku luguudo lwa Mbale – Tirinyi ku Mmande.
Okusinziira ku Gen Katumba, ebizuuliddwawo biraga nti obubenje buno buva kukuvugisa kimama awamu n’okuvuga endiima awamu n’okumala gayisa ku nguudo eziba ziseerera naddala mu biseera eby’enkuba.
Okusobola okukendeeza obubenje, gavumenti yavaayo nebiragiro okwewaza abantu okumala gavuga naabo abavuga nga batamidde awamu naabo abavuga nga tebalina bisaanyizo.
Ebiragiro ebiriwo biraga nti singa omuntu amenya amateeka g’enguudo asibwa okumala essaawa 2 nazimala nga abangulwa ku mateeka g’enguudo.
Kati ekirindiriddwa kwekulaba oba okusaba kwa Dr. Kizza Besigye kunateekebwa mu nkola okusobola okukendeeza ku bubenje obutandise okumalawo obulamu bwa bannayuganda.

Related posts

Olubiri e Mmengo lwawuumye nga Kabaka asimbula abeetabye mu misinde gy’amazaalibwa ge aga 2022.

OUR REPORTER

Buganda etegese okubangula abantu ku butonde bwensi.

OUR REPORTER

Kituufu gavumenti ewagira aba opozisition obutajjibwa mu palamenti?

OUR REPORTER

Leave a Comment