Ebigambo ebitagenda kwerabirwa ku mugenzi Kato Lubwama
Kato Lubwama,’ Biis’o ‘Bidugu’, ‘Bba Dimitiriya’ nga bwe yayitibwanga abadde omuzannyi wa katemba kayingo, firimu, omuyimbi ate nga mu kisanja ekiwedde ye yali omubaka wa palamenti owa Lubaga South ng’adda mu bigere bya Ken Lukyamuzi ‘De Man’.
Abby Mukiibi bw’abadde amwogerako agambye nti “ twebaza Katonda olwa Kato Lubwama kubanga buli kye yali ayagala ku nsi akikoze,’’ bw’agambye.
Ono yoomu ku bantu ababadde balina katemba nga muzaale nga n’ebwomutunuulira obutunuulizi engeri gy’amozoolamu amaaso oseka, era kino kirabika kye kyamutuumisa erinnya lya biiso. Ate ng’ asaaga nnyo era nga kizibu okulowooza nti ali ‘siriyaasi’.
Bino bye bimu ku bigambo n’ebikolwa bye ebitagenda kwerabirwa ku mugenzi
Bannange muntwale mu palamenti ekisanja kimu kyokka nange nneeriire kubanga n’akatima kafu. Era ng’akyogera lunye nti mu palamenti ye yagendayo kulya. Wabula ate entebe bwe yamuwoomera n’ayagala okudda awo Aloyzius Mukasa n’amuwangula.
Waliwo abantu abatasunyukira nneeyisa yange (character), bano bwe balaba nga bankooye beewe obutwa.

Abantu bonna tebalina kufaanagana, Katonda tabangako musiru kututonda nga twawukana. Wano yali ku ttivvi emu.
Ekinneewuunyisa nti omuntu n’ebwamala okugwa abasiru ‘fools’ bongera okukuvuma.
Kasuku bwe yamubuuza nti Uncle Kato olina Iphone yamuddamu nti tonteeka mu bintu bya kisiru.
Omulongo wange Wasswa yabuuka naye ensi yawona kubanga temwandimusobodde.
Nteekawo enneeyisa okubafaanana naye nga sibafaanana ndi mulala nnyo. Wano yali ayogera nga bw’alina ssente ze yafuna mu ddiiru y’e Bungereza. Ng’addamu abagamba nti bamuyamba okumulonda ku bubaka bwa palamenti.
Naye Bannayuganda beewuunyisa oli n’anyiiga kubanga oyambadde ekinu! Ekinu maama.. Kato Lubwama yagenda mu Amerika n’ayambala ekinu. Wano nga yeewuunya Bannayuganda.
Nasanga omukazi mu Amerika ng’amanyiira nti nga tugenda ku lyato tulye obulamu. Nda ndese doola zange ndye ku bulamu obw’ekiseera. Namuddamu nti gwe Uganda yakulema n’ojja eno oyoze abakadde, teyaddamu.
Thats me’ bw’oba omanyiira nkuweerawo. Nze ne bwe nafuuka omubaka era mbadde ntambulira ku booda wadde nga nnina emmotoka nnyingi. Nneebeerera ku kasozi e Mutundwe.
Oba weekalakaasa weekalakaase bibyo. Waliwo bavubuka ne nasanga omu n’ayagala okunkuba naggyayo wheel spanner. Si siri mwangu ng’abantu bwe balowooza. Bw’oba osazeewo tubeera ba ddembe nga tubeera bw’osalawo okuyaaya nga tuyaaya.

N’ololaba ekivubuka nga tekinaaba tekisenya ne kiwoza tugenda kukuggyayo mu palamenti .
Wano mu Buganda, abantu bakulonda ate ne bakuwaanirawo.
Abantu bangi baali tebamanyi nti Kato Lubwama asobola okuyimba era bwe yayimba beewuunya..Wabula nga ennyimba lwa Dimintiriya ne Biiso ze yayimba nga bw’oziwuliriza oseka.
Ate nga bwatuuka okufuuwa Ekingereza oseka ng’era aba nga ali mu katemba, ekibadde kirowoozesa abantu nti Olungereza lumutawaanya.
Abby Mukiibi agambye nti bwe baali baatandika katemba waliwo bwe yalumba ekibuga ng’ayambadde embugo, olwo nga bayita abantu okujja okulaba katemba waabwe.
Ebya Kato Lubwama tebigwa malojja era tujja kumusubwa nnyo naddala bannakatemba, bakazannyirizi abayimbi ne bannabyabufuzi.