Bishop Ssebaggala alabudde abakristaayo aberaguzalaguza n’okunyonya abasumba ab’obulimba ekintu ekiyinza okubaviirako okukola ebintu ebikyamu omuli okutta,okwambala enjegere abaamu n’okukubibwa emiggo mukifo ky’okukiriza Katonda Ayinza byonna n’olwekyo badde eri Mukama.
Okulabula kuno Kitaffe mu Katonda James William Ssebaggala akukoledde mukusaba kw’okusako abaana 52 emikono ku Kkanisa y’Omutukuvu Petero Nsanja ku kitebe ky’Obusumba mu Bussaabadiikoni bw’e Mpumu n’okusiibula abakristaayo b’Obusumba bw’eNsanja ng’ono ayaniriziddwa Ssaabadiikoni Mulinde ne Maama,Abasumba,Ababuulizi,Abakulu b’amasomero n’abantu ba Katonda bonna ng’awerekeddwako Maama Tezirah Ssebaggala Nakimbugwe.
Bishop Ssebaggala okwogera bino kiddiridde okuwulira amawulira g’omukyala eyase abaana babiri ate bwe bamusanze nga alina omusiibe munne gwatuga n’alabula abakristaayo aberaguzalaguza n’okunyonya abasumba ab’obulimba ekintu ekiyinza okubaviirako okukola ebintu ebitaliiyo omuli okutta,okwambala enjegere abaamu n’okukubibwa emiggo mukifo ky’okukiriza Katonda Ayinza byonna n’olwekyo mudde eri Mukama.
Mu ngeri y’emu ono agenze mu maaso n’akubiriza abazadde okufaayo ennyo eri abaana abalenzi kubanga kati abakyala abasinga bebali mubuvunanyizibwa obw’enjawulo ate omwami gwe mutwe gw’amaka okusinga okukuza abavubuka abagenda okubafukira ekizibu nga tebafiiriddwako.
Rev Stephen Nsoigo nga ye Musumba w’Obusumba buno yeekokodde obubbi obukute wani ne wagulu mukitundu kino olw’okwagala obubbi obwamangumangu era nayanjulira Omulabirizi Ssebaggala ebisomooza bye basanga obusamize bungi nnyo abakristaayo abalala tebagala kusaba yadda nga abaamu tebakyakola ekiretedde obuweereza okutambula kasobo olw’ebbula ly’ensimbi.
Wabula ye Ssaabadiikoni w’e Mpumu Ven Robert Kiwanuka Mulinde asabye abakristaayo okubeera abagayavu kyokka batandiike okukola okusinga okulinda abakulembeze okugya okubawa buli kimu n’olwekyo bakole basobole okubeera n’ensimbi ate n’okwawula eby’omuwendo byebasobola okuteekamu ensimbi.