Pulezidenti wa National Unity Platform (NUP) Robert Kyagulanyi Ssentamu (Bobi Wine) asobeddwa, akyali mu maziga oluvanyuma lwa mukwano gwe okufa.
Bobi Wine asobodde okweyambisa omukutu ogwa Twitter, okutegeeza ensi nti mukwano gwe Dido, avudde mu bulamu bw’ensi eno.
Agamba nti embwa ebadde eyitibwa Dido ebadde erina omukwano era ewangadde emyaka 13.

Bobi Wine alaze nti famire efiiriddwa nnyo mukwano gwaayo, “Dear Dido, you were such a lovely dog! Our family was honoured to have your unconditional love and loyalty for a whole 13years. We’ve lost a true friend and family member. You leave with us golden memories“.
Mu bulamu, singa omuntu yenna awangala n’ekisolo okumala ebbanga, enkolagana yeyongera era singa kifa, obulumi tewali njawulo na muntu.
Bobi okusalawo okweyambisa omukutu ogwa Twitter, okutegeeza ensi Dido afudde, ng’omuntu omulala yenna abadde awangala n’ekisolo, alaga nti yabadde mu bulumi.

Wadde yegwanyiza obukulembeze bw’eggwanga lino, naye muntu era naye alumwa singa afuna ekintu ekimunyigiriza.
Mu kiseera ng’akyakungubaga, Bobi Wine asobodde okufulumya oluyimba ‘Someday everything will be Alright’.
Mu luyimba, agamba nti wadde abantu bayita mu bizibu eby’enjawulo, ekiseera ekituufu kigenda kutuuka bafune ku ssanyu.