Pulezidenti w’ekibiina ki National Unity Platform(NUP) Robert Kyagulanyi amanyiddwa nga Bobi Wine asabye bannakenya okwewala okukopa abakulembeze ba Uganda kyebakola nebaggyawo ebisanja mu Ssemateeka.
Kino kiddiridde abamu ku ababaka ba Palamenti e Kenya okutandika okutema empenda z’okukola ennongoosereza mu ssemateeka nga baagala okuggyawo ebisanja omuntu byalina okukulembera nga Pulezidenti.
Bano nga bakuliddwamu omubaka wa Fafi, Salah Yakuba ng’ono wa kibiina kya Pulezidenti aliko , William Ruto ekya United Democratic Alliance bagamba nti omuziziko guno gulemesa abakulembeze abalungi okweyongerayo.
Mu kulabula Kyagulanyi agambye nti essaawa eno bannakenya abamu bayinza okukiraba ng’ekyobulalu naye singa tebatandika kigaanirawo, tebeewunya nga abakulembeze babwe bakitadde mu nkola.
“Bannakenya mubeere bulindaala. Mutaase ensi yammwe ku nkola efaanana eya Museveni. Bwatyo ne Museveni bweyatandika wano naggyawo ekkomo ku bisanja awamu n’emyaka. Mutaase Ssemateeka wammwe nga tanafuuka munafu kubalwanirira,” Kyagulanyi bw’ alambuludde.
Ennyingo nnamba 142(2) eya Ssemateeka wa Kenya ekugira omuntu yenna okwesimbawo okusukka ebisanja ebibiri nga buli kimu kibeera kibeera kya myaka ettaano.
Kati abamu ku babaka bagamba nti ekkomo ku bisanja liveewo bateekewo ekkomo ku myaka egyali gyagyibwawo mu 2004 era gibeere 75.
Singa kino kinatuukirira kibeera kitegeeza nti omukulembeze aliko William Ruto ow’emyaka 55 abeera asobola okukulembera kenya ebisanja byonna byayagala okutuuka nga awezezza emyaka 75.
Wadde bino biri bityo Kenya yeemu ku nsi ezibadde zitunuuliddwa ennyo mu Africa ku nkulaakulana ya Demokulaasiya olw’engeri gyebabadde bakyuusamu obuyinza