Omulabirizi wa Central Buganda Diocese, Bp. Michael Lubowa asabye abantu mu ggwanga okujjumbira enteekateeka za Ssaabasajja Kabaka kibayambe okutumbula embeera zabwe.
Okusaba kuno kukoleddwa Omulabirizi Lubowa ku Lwokusatu bwe yabadde akulembeddemu okugaba omusaayi e Kiriri, mu ggombolola ya Mumyuka Mpenja, mu Gomba.
Omulabirizi Lubowa yagambye nti enteekateeka Ssaabasajja Kabaka z’ayanjulira abantu ziba ziyamba abantu bonna naddala okutumbula embeera z’ebyobulamu bwabwe, nga kyetaagisa abantu okuzijjumbiranga.
Ye Omwami wa Kabaka atwala essaza ly’e Gomba, Kitunzi, Celestino Jackson Musisi, agambye nti wakyaliwo okusoomoozebwa olw’abantu okwagala okukola emirimu ku ssaawa esembayo, ky’agambye nti oluusi kizingamya enteekateeka eziba zireeteddwa.
Ate Omutaka Nakigoye, Samson Nabbimba Lukabya, ayongedde okukikkaatiriza nti Obwakabaka bujja kukola kyonna okulaba nga butumbula embeera ezinyigiriza Bannayuganda, n’asaba abantu bonna okubeera obumu mu lutalo olw’okulwanyisa mukenenya.
Enteekateeka eno ekyagenda mu maaso nga ewagirwa ekitongole ki Kabaka Foundation wamu ne bannamikago okuli Uganda Blood Bank naba Redcross.