Obwakabaka bwa Buganda bukungubagidde Nnaabakyala wa Bungereza , Elizabeth II ayafudde olunaku lw’eggulo nga aweza emyaka 96.
Obubaka buno bukoleddwa Katikkiro Charles Peter Mayiga bw’abadde mu lukungaana lwa bannamawulire olutudde mu Bulange e Mmengo ku Lwokutaano.
“Amawulire g’okufa kwa Nnaabakyala Elizabeth II, gasaasaanidde ensi yonna nga mwotwalidde Uganda n’ Obwakabaka bwa Buganda. Mu kiseera kyamaze nga omukulembeze wa Bungereza, Elizabeth II yalaze obukulembeze obwenjawulo nga abadde asalira ebisomooza amagezi, yerekerezza bingi era buli kimu akikoze mu bumalirivu,” Katikkiro Mayiga bw’agambye.

Katikkiro agambye nti Nnaabakyala Elizabeth II yategeera nnyo obuvunaanyizibwa obugendera mu kifo kyabaddemu era afubye nnyo okubutuukiriza.
Owek. Mayiga ategeezezza nti Obwakabaka bwa Buganda bulina bingi byebufaanaganya n’Obwakabaka bwa Bungereza bwatyo nasaasira Abangereza bonna n’ amawanga agaliko amatwale ga Bungereza wamu n’Olulyo Olulangira mu Bungereza.
Kamalabyonna Mayiga era ayagaliza Kabaka omuggya owa Bangereza Charles III obukulembeze obulungi obujudde ebibala.