Obwakabaka bwa Bugand bukoze omukago n’ekibiina ki Eminent Entertainment Group okusobola okukuuma obuwangwa n’ennono awamu n’okutumbula olulimi Oluganda.
Okusinziira ku bakulu ku njuyi zombi kaweefube ono wakwongera okubangula abayizi ku nkozesa y’olulimi oluganda entongole kibayambe okulukuuma n’okulutegeera.
Mu nteekateeka eno era omukago guno gwakuyamba okulwanyisa akawuka ka Mukenenya nga gulaga abayizi akabi akali mukwenyigira mu bikolwa by’abafumbo nga omuntu taneetuuka.
Kino kyakukolebwa nga bayita mu mizannyo, katemba n’ebiyiiye ebirala era bano bagenda kubisimbuliza okuva ku kitabo ky’engero 22 era enteekateeka eno kulwa Buganda ekulembeddwamu munnamateeka Barbra Nansumba okuva mu woofiisi ya Ssaabawolereza.
Akulira Eminent Entertainment Group Ddiiro Paul yasiimye enkolagana eno etuukiddwaako era agamba nti emizannyo gino baakugyeyambisa okukwasizaako Beene ku lutalo lw’okulwanyisa mukenenya nokunyikiza ennono mu bavubuka nga batambula mu masomero.
Ye Ssentebe w’ekibiina ky’olulimi Oluganda Lukabwe Fred Kisirikko yategeezeza nti omukago gwebasse gwa gwakumala emyaka 3 era basuubira nti kino kyakuzza empisa, obugunjufu, n’ennono mu baana erirabika nga ziserebye ensangi zino.