Minisita omubeezi owa gavumenti ez’ebitundu mu Bwakabaka, Owek. Joseph Kawuki ategeezezza nti Buganda etegese okwongera okubangula abantu ku butonde bwensi n’engeri y’okubukuumamu nga ejaguza emyaka 60 bukya efuna bwetwaze okuva ku bafuzi b’Amatwale.
Okulangirira kino minisita Kawuki yabadde mu lukung’aana lwa bannamawulire mu Bulange Mmengo ku Lwokubiri ng’alambika ku lunaku luno.
Okusinziira ku minisita Kawuki ebigenda okukolebwa mulimu; okubangula abantu ku mateeka agakwata ku butondebwensi, okukola Bulungibwansi awamu n’okusimba emiti awamu n’ekibira kya Kabaka.
Emikolo emikulu gigenda kukwatibwa ku Lwomukaaga luno nga 8th, October, 2022 era lwe lunaku Beene lweyawaayo buli mwaka okukulizaako olunaku lwa Bulungibwansi mu Buganda ne gavumenti ez’ebitundu.
Ebijaguzo by’ omulundi guno biri wansi w’omulamwa, ogugamba nti, ‘Tunyweeze enkola ya Bulungibwansi okukuuma Obutonde bw’ensi ‘.
Minisita Kawuki asinzidde wano naakubiriza abantu okwennyigira mu buli nteekateeka okugyayo obulungi ekitiibwa kyobwakabaka.
Kinajjukirwa nti Sabiiti ya Bulungibwansi yatongozeddwa eggulo ng’ebimu ku bikujjuko ebikulemberamu olunaku luno nga kuno kwekugenda okugattibwa enteekateeka endala.
Owek. Kawuki agambye nti Bulungibwansi wakukolebwa mu masaza ga Kabaka gonna era abaayo basimbe emiti era bongere okunnyikiza empisa mu bantu.
Enteekateeka ezigenda okugoberera mulimu okulambula ennyumba ezazimbirwa abantu abeetaaga okuberwa mu ssaza Kyaggwe.
Era ku Lwokutaano nga 7, ennono y’ Amakula agaweebwa Ssaabasajja Kabaka egenda kukolebwa nga gano gakukung’aanyizibwa okuva mu bantu ab’enjawulo.
Owek. Kawuki asabye abantu ba Kabaka okwetanira buli nteekateeka okugyayo ekitiibwa kyobwakabaka.
Kinajjukirwa nti Abangereza bwebaali tebanawa Uganda eyawamu obwetwaaze nga 9, October, 1962 basooka kubuwa Buganda nga 8, October 1962.