Obwakabaka bwa Buganda ne bannamukago ab’ekitongole ky’ ensi yonna ki UNDP baweze okukola buli kimu okulwanyisa ekirwadde ki Ebola ekitadde bannayuganda ku bunkenke.
Enteekateeka eno yayindidde ku kitebe kya UNDP e Nakasero ku Lwokutaano nga yeetabiddwamu abakungu ab’enjawulo okuli aba gavumenti eyawakati, bannakyewa ne bannaddiini okuteesa ku ngeri gyebasobola okunafuyaamu ekirwadde ki Ebola.
Bw’abadde akiikiridde Katikkiro mu lukung’aana luno, Owek. Noah Kiyimba, akakasizza nti Obwakabaka buggya kweyambisa nnyo omukago gwe bulina ne Minisitule ey’Ebyobulamu, okwongera amaanyi mu kusomesa abantu ku ndwadde zino awamu n’obutabanguko mu maka.
Minisita Kiyimba annyonnyodde nti oluvannyuma lw’okwegatta ne UNDP ne basomesa abakulembeze ku mitendera egy’enjawulo ku bulwadde bw’ebola, mukenenya n’obutabanguko obwekuusa ku kikula ky’abantu nga bayita mu byoto ku ggombolola ez’enjawulo okubangula abantu ku ngeri gyebasobola okwetaasa ebirwadde bino.
Ye Minisita Omubeezi ow’Ebyobulamu ebisookerwako mu Gavumenti eyawakati Hon. Margaret Muhanga, yeebazizza Obwakabaka awamu ne bannamikago abalala olwa kaweefube ateekeddwa ku kukubiriza abantu ku kulwanyisa ebola n’endwadde endala.
Agambye nti enkola eno eyambye nnyo abantu okumanya ebifa ku bulwadde kuba bawuliriza nnyo obubaka obuva embuga.
Ate eyakiikiridde ekitongole ky’ebyobulamu mu nsi yonna ki WHO, Dr. Alex Kimbalu, agambye nti ng’ekitongole, basoomoozeddwa nnyo kuba endwadde zino zizingamya eby’enfuna n’obulamu bw’abantu nasaba ebitongole byonna okwenyigira mu nteekateeka eno.
Ye omubaka wa UNDP mu Uganda, Elsie Attafuah, akubirizza Uganda okusala amagezi ag’okwangangamu endwadde n’ebibamba ebigyolekedde omuli; COVID19; Ebola n’amataba.
Attafuah yeebazizza nnyo Obwakabaka ne bannamikago abalala olw’okwegatta ku gavumenti mu kulwanyisa Ebola; mukenenya; Covid19 n’endwadde endala.
Eyakiikiridde minisitule y’ebyobulamu, Owek. Richard Kabanda, ategeezezza nti okusomoozebwa kwebalina gemawulire agawakanya ekirwadde ky’ Ebola nasaba abantu obutasaagira mu nsonga za bulamu bwabwe.
Asabye abantu okuwuliriza ennyo obubaka bw’abakugu ku ndwadde ez’enjawulo, beewale nnyo okuwuddiisibwa abo ababalimba ate n’okweraguzalaguza. Dr. Kabanda agamba nti abantu 56 be baakafa obulwadde bw’Ebola.
Omukolo gwetabiddwako, Omukubiriza w’olukiiko lw’Abataka, Omutaka Namwama Augustine Kizito Mutumba, Ssenkulu wa BBS Terefayina Omuk. Patrick Ssembajjo, Ssenkulu wa KCCA, Dorothy Kisaka ne Mufti Ramadhan Mubajje.