24.2 C
Los Angeles
September 24, 2023
Image default
AmawulireEbyemizannyoFeatured

Bukifudu bwefuze Pearl

Omusinde gw’emmotoka z’empaka okuva mu Bukifudu gwalese ng’abawagizi baazo banyenya mitye.  Mmotoka zino ekika kya Ford Fiesta obwedda abamu bazivugirako ne ku mipiira ebiri, enduulu n’etta abalabi.

Karan Patel mu Ford Fiesta

Ford zigenda zimenyawo Subaru ne Mitishubish era Duncan Mubiru ‘Kikakane’ munnayuganda asoose okugireeta mu mpaka zino bwe yagezezaako okutunka n’abagwira abazirina n’agikuba ekiggwo ku Mzuri Hotel e Namataba.  “Mundeke nyumirwe mmotoka mpya,” Kikankane bwe yagambye banne abaabadde basubira ekiggwo kino nga tanasimbula.  Bino byonna okugwaawo nga n’omuzungu eyagimuguza era makani we ng’atemya.

Gomes Leroy Gabriel mu Ford Fiesta.

Nga COVID tanajja kifudu endala ekika kya Skoda Fabia, ng’evugibwa Manvir Singh Baryan yaleka bangi bawuniikiridde era ‘yalya’ Pearl emyaka esatu ejidiringana (2017-2019).   Empaka zino ziwagirwa Shell V-Power.

Related posts

FORTEBET DONATES MATTRESSES, BLANKETS, FOOD WORTHY MILLIONS

OUR REPORTER

Akabenje ku luguudo lwe Jinja katuze 2.

OUR REPORTER

Owek.  Mayiga asabye abawangaalira ebweru  okusiga ensimbi  okwongera okulaakulana.

OUR REPORTER

Leave a Comment