!
“ABAMBOWA BA KABAKA BAALAGA WA? LWAKI KABAKA YETOOLODDWA MAJJE! KABAKA YAWAMBIBWA AMAJJE!”
KATI NO TUULA OYIGE.
Okuva omuze og’okuvoola obwakabaka ku mitimbagano lwegwatandika, bintu bingi ebizze byogerwa, nga n’ekimu ku bbyo, kwekwemulugunya n’okusala ebigambo ku bakuumi ba Ssabasajja abalabibwa buli lwaaba asiimye alabikeko eri obuganda.
Mu bimu ku bigambo ebyogerwa ku bakuumi bano, mulimu bino wammanga;
1. Abambowa baagobebwa mu lubiri nebasikizibwa amajje/S.F.C
2. Museveni yawamba kabaka naamwebunguluza amajje okumuketta n’okumukugira okulaga wonna waaba ayayadde.
3. Katikkiro yetoolooza kabaka amajje.
4. Lwaaki abatali baganda era abatamanyi nnono za bwakabaka (aba S.F.C) bakuuma kabaka
5. Abamajje abakuuma kabaka ba mbega ba museveni
6. e.t.c e.t.c e.t.c
Okuddamu ebibuuzo ebyo, njagala tusooke tutegeere, Omumbowa yaani!
Abambowa, oba omumbowa, abera muweereza wa Ssabasajja, nga omulimu gwe gwa kukuuma Kabaka, n’abantu be, n’ebintu bye. Omulimu gw’obumbowa buweereza nga obuweereza obulala bwonna. Si kinyumu, si kuzanyirira, si kwoolesa bwolesa, wabula mulimu gwa bukuumi bwennyini.
Okuva edda n’edda, mu gwanga Buganda, kabaka ye muntu eyasingaanga okukuumibwa n’abantu abatendeke enyo ddala, era n’ebyokulwanisa ebisinga okuba eby’omulembe n’amaanyi.
Okugeza, nga Ffe ab’ente tetunnavumbula buweesi, abantu abaali bamanyi okuwuunda amayinja, n’okuwawula emiggo okubikolamu eby’okulwanisa ebirungi, bonna batwalibwanga mu lubiri okusobola okukolera Ssabasajja eby’okulwanisa ebisinga obulungi eby’emiggo n’amayinja ebisinga obulungi ku mulembe ogwo.
Ffe abeddira ente, nga tuyita mu jjajja-ffe Katongole bwetwayiiya nti nga tukozesa amayinga “amatale”, tusobola okusaanuusa ebyuuma, netubikolamu ebintu ebyenjawulo, nga muno mulimu n’ebyokulwanyisa nga amafumu, obusaale, ebyaambe n’ebiringa ebyo, era Ssabasajja yatwekwaata naatuteeka ku mwaanjo nyo, netufuuka abaweesi b’obwakabaka, era gwemulimu gwaffe omukulu mu lubiri lwa Ssabasajja.
Ensonga eyatusembezesa, okutuuka n’okutuwa omutala mulamba e Mulema mu Buddu ewali obutaka bwaffe, gyenayogeddeko wali waggulu, nti Ssabasajja yaalina okubeera n’abakuumi abasinga okuba ab’omulembe, n’ebissi ebisinga okuba eby’omutawaana mu buli kadde. Olw’ensonga eyo, twalina okusembezebwa mu lubiri, tusobole okuweesaanga eby’okulwanyisa ebinakozesebwanga abambowa abatendekeddwa obulungi okukuuma Omutanda, n’abalwaanyi abalara mu ntabaalo ezenjawulo.
Abawarabu bwebajja kuno, mu kusuubulagana ne kabaka n’obwakabaka, n’okukakasa nti oluseregende lwabwe luweebwa obukuumi nga luyita mu Buganda okutwaala ebyamaguzi okuva munda mu Africa okugenda ku mwaalo e Mombasa, baasasulanga nga oluusi bawaayo ebintu ebikalu ebyaali byegombebwa wano nga engoye, endabirwaamu, amasoonko, ebyokwewunda, n’emmundu.
Omuwalabu bweyaleeta kuno emmundu era tewali walala wonna wezaali ziyina kubeera okujjako ewa kabaka, nga zikozesebwa abambowa be okumukuuma, kubanga era twalabye dda nti ebyokulwanyisa ebisinga omulembe byaalina kubeera mu mikono gya kabaka. Olwo nno abambowa batandika okuva ku kukwaata amafumu, engabo n’obusaale, nebatandika kabaka kumukuumisanga mundu.
Mu buganda, buli musajja oba omuvubuka omulamu obulungi eyesobola, kyamukakatangako okukuuma obuganda n’okubutabaalira singa yabanga akoowoddwa. Kino kitegeeza Buganda teyayina majje ga nkalakkalira, Naye olw’obukulu bwa Ssabasajja, ye yaberanga nabakuumi abenkalakkalira, era nga baayitibwanga ABAMBOWA.
Abambowa bano, baakoleranga ddala emirimu nga gyolaba amajje ne puliisi gyegikola. kwekugamba, abambowa gegaali amajje ne pusiisi gebiseera ebyedda.
Okugeza, bwewabeerangawo omujeemu yenna, kabaka yatumanga bambowa nebamuleeta, era nebamukangavvula nga kabaka omusango bwaaba agusaze. Ekyokulabirako ekisinga okumanyika, ye Mukajanga eyali omumbowa wa kabaka mwanga eyakola eddimu eddene eryokunoonya, okukwaata n’okukangavvula abajeemu abajeemera kabaka olwokusigulwa abaminsani abazungu. (Oba bayite abasomi oba abajulizi).
Ekyokulabirako ekirala, mu mirembe nga omuze omubi ogw’okusaddaaka abantu gukyaaliwo, nga ku mulembe gwa Ssekabaka Kagulu tebuccwereke, era abambowa bebagendanga mu bitundu ebyenjawulo, nebanonayo ab’okusaddaakibwa. (Guno omuze gwaali gwa dda nyo era tegwakolebwa ba kabaka bangi, era gwadibizibwa dda).
Nelwewabangawo omuntu alemereddwa okusasula omusolo gwa Ssabasajja oba amenye etteeka lyonna, era abambowa bebamunonanga okumutwaala embuga okuwerennemba n’omusango.
Kino kitegeeza nti nga ojjeeko okukuuma kabaka, Obumbowa bwabeeranga buweereza nga Puliisi oba amajje, n’obukessi.
Abambowa ab’edda, bakwaatanga busaale, mafumu, mayinja, miggo, nvumuulo, byambe, n’eboringa ebyo, era byebaakozesanga okukuuma Ssabasajja, kubanga era obulabe obwaali busobola okutuusibwa ku mutanda tebwaalinga bwa maanyi kusingako awo. Kitegeeza emiggo, obusaale, amafumu, engabo, byaali bisobolera ddala okweng’anga omulabe, kuba era naye yandibadde azze na ffumu oba kasaale oba kyaambe.
Abambowa ab’ebiseera ebyayita, bayambalanga mbugo, lugabire, emireera, n’ebintu ebiringa ebyo, kubanga byebyambalo ebyaalingawo ebyaali bisinga obulungi n’obugumu. So tebaabyambalanga lwa kunyumisa, oba lwa nnono, oba lwa kutuukiriza bulombolombo. Nedda, by’ebyambalo ebyaaliwo ebyaali bisinga obugumu.
Nga amajje amalala gonna agaba n’ennyota oba ebitiibwa ebiraga ensengeka y’obukulu, ne mu bumbowa mwabangamu ebitiibwa okulaga emitendera n’emirimu egyenjawulo.
Okugeza;
1. MUSIGULA/ABASIGUZI/EKITONGOLE EKISIGUZI.
Kino kyabanga kitongole kya bambowa ekikwaata abakozi b’ebikolobero.
2. SSENKOOLE.
Ono yeyabeeranga akulira okukwaata n’okubonereza abatiitiizi ne ba “bakkidde-awo” mu ntalo. (bwowuliriza oluyimba lwa muweereza wa Ssabasajja Mesarch Ssemakula oluyitibwa “NJAGALA NYIMBIRE OMUTANDA”, ayogera ku jjajjawe Kisirikko, nga yali SSENKOOLE, mu bumbowa bw’omu ku ba Ssekabaka mu mirembe egyayita).
3. NASSERENGA.
Avunanyizibwaako okukuuma oluwanga lwa Kabaka nga ayambibwaako omumbowa omulala ayitibwa MUTAMANYANG’AMBA.
4. EMPIINGU.
Kino kitongole kya bambowa abakuuma ku mazzi oba ku nyanja.
5. MPIINGA.
Ye mumbowa omukulu mu lubiri.
6. SEBATTA, yaakulira abambowa abo bonna abamenyeddwa waggulu, (mu mulembe guno oyinza okumuyita CDF)
Mu kujja kw’abazungu kuno, baawamba obuyinza bwa kabaka, nebanaguya nyo obwakabaka okuva ku muzungu kyeyandiyise “absolute monarchy “, naatulekera obwakabaka obwnnono n’obuwangwa, Naye nga obuyinza abutujjeeko. Okugeza, mu Bumu north ku buwaayiro obw’endagaano ey’olwenda, mwaalimu okulungamya ani alina obuyinza okubeera n’emmundu, ani alina okuzigaba mu bantu, ani alina okuzirabirira, era omusolo gw’emmundu ani agugereka.
Era obuyiinza obwo omuzungu yabweewa, naatondawo ekitongole ky’amajje ne puliisi. Kino kitegeeza, ekitongole ky’abambowa, nga bwebaali bamanyiddwa okuva edda n’edda, kyaali kisaabuluddwa. Kubanga, kabaka yali takyasobola kubeera na buyiinza ku mundu, obwo obuyinza government yamatwaale yali ebweddizza nebuwa ekitongole kyamajje ne puliisi.
Olwo no, kiba kitegeeza, kabaka okukuumibwa, alina kwesigama ku majje aga gavumenti y’amatwaale, nga bamuwa amajje ag’emundu, oba okumuwa emmundu zaalina okusasuliranga omusolo omuunji enyo, ye aziwe abo baasuubira nti beyetaaga okumukuuma, naye nga zisigala mu buyinza bwa gavumenti ya wakati era esobola okuzongezaako omusolo oba okuzitumya ziddeyo, ziggibwe yonna gyezaali ziweereddwa.
Olwokuba Kabaka abeera alina okukuumibwa saawa yonna, abatongole ku byaalo baafunanga abavubuka abasunsuddwa obulungi, nebaweerezebwa mu lubiri okukuuma Ssabasajja mu ngeri yonna esobose, wabula olwokuba kabaka obuyinza ku mundu bwaali bumujjiddwaako, ate nga obulabe obuyinza okutuusibwa ku bulamu bwe businga ku mukuumi alina emiggo, amafumu n’obusaale kyasobola okutaasa, abaganda bangi, okuviira
ddala mu mirembe gyabafuzi b’amatwaale baasabibwa okuyingira amajje, (ekintu kyebaali tebaagala nyo), naye olw’okwagala okukuuma kabaka, bangi bakikola.
Mu baayingira amajje okuviira ddala mu mirembe gy’abamatwaale, Ssekabaka MUTEESA, eyali Commander in chief of all armed forces nga president Uganda bweyafuna obwetwaaze, yalondamu abo beyalaba nga beesigwa nyo nyo nyo, nga baagala obuwangwa bwaabwe, era naabafula abakuumi be, oba bayite abambowa be.
Obusambattuko bwa 1966, nga Kawenkene obote alumba olubiri nga ayagala okutta Kabaka, abamajje, Kabaka MUTEESA beyali afudde abambowa be, bebaamuli ku lusegere enyo okumutaasa okukwaatibwa n’okuttibwa Kawenkene obote. Okugeza.
Abajjaasi George Maalo ne Joash Ndikibuulirani Katende, baabeera ne Muteesa okuva nga emmundu yaakatandika okusindogoma ku wankaaki w’olubiri, bwebaalaba nga olutalo lubayiinze, ne bamuddusa nga bamubuusa ekisenge Ky’olubiri, nebamutwaala ne bamukweeka ku lutikko e Lubaga. (Olaba obukulu bw’abajaasi abeesigwa).
Nga Entegeka zikoleddwa, nga n’omumyuuka Buwekula J.W Kasaggira amaze okutegeeza ku Mulangira Sebastian Kitayimbwa Mumiransanafu, eyali omukulu w’essaza Mawogola, era abajaasi bano ababiri baavuga Kabaka muteesa okumujja e Lubaga kumakya, kuba baali namaze okutebuka nti Obote ayinza okulumbayo, nebamutwaala ewaKasaggira, eyamutwaara obutereevu ewa Mumiransanafu, naye eyamwongerayo mu gombolola ye Ssembabule, nga era abajaasi Katende ne Maalo bakyaali mu kukola omulimu gwaabwe ogwokukuuma.
Essembabule, kabaka yakwekebwa ewa Angelina Nabakooza Namwandu Nalongo, omuzira Nte, eyamukweeka obulungi naamulabirira n’obuvumu, emmizi, n’obwesigwa. Nga kabaka ali ew’omuzira Nte Angeliba Nabakooza, Kitayimbwa yamufunira omujjaasi omulara amukuume emisana n’ekiro. Omujaasi ono naye yali muzira Nte era yayitibwanga Rajab Kakooza, era omulimu yagukolera ddala n’obwesimbu okuva nga 27 May, mpaka nga 16 June 1966.
Mu kiseera kino, abajaasi Goerge Maalo ne Joash Katende baalinga ku mulimu gwa kuketta byetoolodde byaalo kabaka waakwekeddwa okukakasa nti kawenkene obote tabagwa mubuufu, mpozi n’okutema empenda ne Mumiransanafu ezongerayo kabaka ebweeru w’eggwanga.
Obudde nga butuuse, abajjasi katende ne Maalo beegattibwaako abajaasi abalala Denis Luyombya, Erinanto Mayanja, Badru musoke n’omuzira nte Mugabo, nebessa mu ddene, nga ne Kitayimbwa Mumiransanafu talutumidde mwaana, neboolekeza Ssabasajja ebweeru w’eggwanga nga bayita mu Ankole.
Mu ankole, waaliyo abasirikale ba puliisi abalara babiri, okuli Wasswa ne Mayanja, abakweeka kabaka emisana mu store y’amaliba g’ente eyali ey’omuzira Nte omulara ayitibwa Mugabo, mweyabera okutuuka ekiro, olwo abajaasi Badru Musoke, n’omuzira nte Mugabo, nga bali wamu ne Joash Katende, George Maalo, nabo abaali abajaasi, n’omulangira Kitayimbwa, ne bavuma Ssabasajja okumutuusa e Burundi, gyeyalinyila enyonyi eyamwongerayo mpaka Bungereza gyeyakisiza omukono.
Mu nteeiateeka eyo yonna ey’okutaasa omutanda mwaalimu abajaasi abalala nga Dan Kamaanyi, (ono yanyiiga nyo nga kabaka awangangusiddwa era naayagala n’okuwolera eggwanga nga atta Obote, naye ebyembi, lweyali ayagala okutuukiriza enteekateeka ye, essasi lyakwaata mumyuuka wa mukulembeze. Obote teyaliimu mu motoka, era yasibwa, yayimbulwa emirembe bwegyakyuka, naye yafa munyiivu eri abaganda olwobutakolawo katiisa, nebaleka omwaana wa Ccwa n’omuzira Nte Druscilla Namaganda nawang’angusibwa Obote atyo, ne Benedicto Kabajjo naye yali mujaasi eyenyigira obutereevu mu nteekayeeka eno.
Mpandiika ebyo byonna waggulu okulaga gwe omusomi nti abajaasi, abatendekeddwa obulungi, nga baagala obwakabaka bwaabwe, tebaba babi, era guno si gwemulembe gwebatandikiddeko okuweereza obwakabaka, oba okwesigibwa kabaka, nga bwetulabye waggulu, nti ba kabaka bebabaddeenga mu mitaambo gyebyokulwanisa ebisinga amaanyi, nabajaasi abasinga obutendeke okuva ku mirembe egyedda.
Ka tuddeyo ko katono ku Mwaami Joash Ndikibuulirani Katende.
Ono yali mujaasi mutendeke nyo nyo nyo, nga ali ku daala lya Meeja (Major), eyo Kabaka Muteesa gyeyamujja namufuula omumbowa we. Nga bwetulabye waggulu, teyatiiririra mutanda, yabeera naye mpaka, era baagenda e Burundi naye. Abasigadde nga Badru Musike, Omuzira Nte Mugabo ne Sebastian Kiyayimbwa bwebatuusa kabaka e Burundi, bo baakomawo, naye Katende yasigala naye, era yalinya naye ennyonyi mpaka Bungereza.
Mu Bungereza, Katende, eyali Major Omutendeke, yasulanga ne muteesa mu Council Flat emu, era yeeyabeera naye mu mbeera yonna enzibu, nga yaamukolera emirimu gyonna, nga “house boy”, nga Muteesa gwabuulira ku nnaku ye, era mweeyo embeera mweyamutuumira n’erinnya NDIKIBUULIRANI, kubanga yeyekka Muteesa gweyalina okumpi okusiindira ennaku eyali emuyonka obutaaba mu buwanganguse.
Major Joash Ndikibuulirani Katendeyasigalira ddala ku lusegere lwa Muteesa, okutuuka kawenkene Obote lweyasindika Mbega we (kitebeerezebwa nti yali Tatu Ssekaana), eyamulungira emmimbiri eyamujja (Ssekabaka Muteesa) mu budde, bwaatyo najja omukono mu ngabo, ekyooto kya Buganda nekizikira.
Nga Ssekabaka Muteesa akisizza omukono, Major Katende, omuweerezaawe omweesigwa, yasigalayo e Bungereza n’enjole ya Muteesa.
President Idd Amin Ddada bweyasalawo okuzza enjole kuno, ne Major Katende yakomawo kuno, (Ndowooza olaba okufaayo n’okwagala omujaasi ono kweyalina eri Kabaka we).
Nga akomyeewo kuno, nga n’enjole ya MUTEESA emaze okuterekebwa mu masiro e kasubi, Major Katende yafuna omulimu naatandika okubeera nga omukulu w’ebyokwerinda ku Makerere university, “Head of security Makerere university “.
Kyokka ekyewunyisa, Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II bweyazza engoma mu 1993, obwakabaka bwebwaakomawo, Major Katende yasuulawo omulimu gwe omusava e makerere, naagenda addemu aweereze obuganda nga akuuma Mutabani wa MUTEESA, eyali amaze okufuuka kabaka omujja SSABASAJJA RONALR MUWENDA MUTEBI II.
Major katende, omujaasi omutendeke, Ssekabaka muteesa gweyajja mu majje agaali agabafuzi bamatwaale obudde obwo, yaddamu okuweereza nga omumbowa, era ku mikolo kumpi gyonna, nga alabibwaako nga atambulira emabega, ku lusegere lwa Ssabasajja, oluusi nga asitudde Maanvuuli eyo ennene eyekikuusikuusi gyemutera okulaba nga kabaka asiimye okulabikako eri obuganda, oba nga asitudde “leather bag” ya kabaka ebeeramu ebiwandiiko bye, oba okumutuma ku mirimu gyonna kabaka gyaaba asiimye, era nga ne ku ng’endo za kabaka ez’ebweru, major Katende agenda naye. (Mulaba omujaasi bwaaba omwesigwa ate omuwulize bwaaba nga kyakola akyagala!)
Major Katende yaweereza Ssekabaka MUTEESA, ne mutabani we, Labaka aliko kati, Ssabasajja Ronald Muwenda Mutebi, mpaka wano jjo jjuuzi lweyafudde “Heart attack “, nga 18. April. 2001, era Ssabasajja kenyini, yewandiikira obubaka obukubagiza era obweebaza omugeenzi olwokwagala, obwesigwa, obuwulize, n’okwefiiriza ku lwa namulondo, era obubaka obwo yabwessizaako omukono ye kennyini.
Ebyo nga tumaze okubitegeera, tukikaanyizaako nti obumbowa buweereza, era omulimu ogwo guba gwa Kukuuma ssabasajja. Ebiwayi byemirimu emirara egyabambowa abedda, tulabye nti Ssemateeka, nabafuzi bamatwaale, baagiteeka mu gavumenti eya wakati, nga ekozesa poliisi n’amajje.
Tukitegeere nti mu kukola omulimu ogwo ogwokukuuma Kabaka, abantu be, n’ebintu bye, bambowa b’omulembe guno tebakyasobola kwambala lugabire, bisansasansa, embugo, busuuti, amaliba, n’ebintu ebirala ebiringa ebyo. Kubanga ebyo babyambalanga olwomulrmbe ogwengoye okuba nga tezinajja, abambowa b’ekyaasa kino bambala ngoye, kubanga weziri.
Abambowa ab’ebyasa ebyedda baakwataanga busaale, mafumu, ngabo, butida, miggo na byaambe, kubanga by’ebyokulwanisa ebyaali bisinga amaanyi mu biseera ebyo era n’omulabe eyandilumbye kabaka era teyandibadde na bissi bisingako awo. Naye ku mulembe guno, omulabe nga asobola okwagala okutuusa obulabe ku kabaka nga azze na mundu, “pistol ” “boom”, “stab-knife”, “sophisticated poison” nga ow’barussia ne “North Korea” ne “America” ne “Israel”, tosuubira bambowa ba mulembe guno kwesiga busaale na mafumu kutangira mulabe nga oyo. Nabo babeera balina okulinyisa eddaala, bakwaate emmundu, n’ebyokulwanisa ebyamaanyi ebisingako.
Naye tewerabira, nti obuyinza ku kugaba emmundu, Ssemateeka n’enteekateeka yabafuzi b’amatwaale, ebuwa government ya wakati. Kino kibadde bwekityo, kuva ku mirembe gy’abafuzi bamatwaale.
Kino kitegeeza ki, nti Obwakabaka bulina okusalawo, oba buleka kabaka asigale nga obukuumi bwe buyabayaba, oba okuteekawo entegeeragana ne “goverment”, kabaka asobole okukuumibwa mu mateeka, naye mu ngeri gyeyesiimidde. Tewerabira nti kabaka “V.V.IP” era “government ” kiba kigikakatako okulaba nga tatuusibwaako kabi. Ye nsonga lwaaki ne paapa akuumibwa, ye nsonga lwaaki nabakulembeze bamadiini, mu nsi yonna bakuumibwa.
Njogeddeko nabantu abenjawulo, abamu nga baali, abalara bakyaali baweereza e Mengo ku mitendera egyenjawulo omuli n’abambowa, abali mu byambalo byabamajje naabatali, nebampa bwiino omu kw’ono.
Nayogerako n’abamu ku bakuumi ba Ssabasajja ku mikolo egimu, nga omu eyali mu byambalo bya UPDF nga akuuma, nemmubuuza, wayingira otya mu buweereza bwa Ssabasajja buno. Bino byeyangamba;
“Omutongole ku kyaalo kyewaffe, yali ammanyi, nga ndi mukozi, ndi muwulize, ndi mwesigwa nga ndi wa mpisa, nga njagala nyo obuwangwa bwange, era yajja ewaffe nansabayo, nze, nabavubuka abalala ab’okukyaalo kye, naatuweereza ku gombolola, gyetwasanga abavudde ku byaalo ebilala, owegombolola natusunsulamu, abaayitamu naabaweereza ku muluka, gyetwasanga abalala abavudde ku magombolola amalala, ow’omuluka natusunsulamu, natuwereza ku Ssaza gyetwasanga abavudde ku mirukaemirala, owessaza natusunsulamu naatuweereza mu lubiri. Mu lubiri gyetwategeezebwa nti tugenda kutendekebwa my majje, era tufuuke abakuumi ba Ssabasajja abatongole.
Owokubiri, era nga naye yali mu byambalo bya UPDF, yampa enkola yeemu era naye gyeyayitamu, wabula ye yangamba, bwrbaatuuka mu lubiri, baabawa omukisa okusalawo, oba ayagala kwegatta mu majje, oba ayagala akuume ssabasajja naye nga tali mu majje, era abamu bagaana okuyingira amajje, Naye era baayingizibwa mu kibiinja ekirala ekikuuma kabaka naye nga si ekyamajje.
Kino kikutegeeza, nti bemulaba nemubayita aba S.F.C, ekituufu kiri nti BAMBOWA, naye olw’obukwakkulizo mu Ssemateeka, obuwa UPDF okubeera ekitongole kyokka ekiyina obuyinza okugaba oba okubeera n’obuyinza ku mundu ezetagibwa okukola omulimu ogwo, Abambowa abo baalina okuyingizibwa mu majje, batendekebwe, era bafuuke abajaasi abatendeke, Naye nga baakukola mulimu gwa bambowa, era abo bemulaba, bambowa abekyaasa kino ekitetaagisa kwambala mbugo, maliba, lugabire, na kukwaata mafumu, busaale na miggo. Ate era balondebwa mu nkola entongole eyayitibwangamu okuva edda nedda okulonda abambowa.
Era abantu abo, Baganda, baagala kabaka waabwe, era baagala ennono zaabwe.
Kituufu, baayingizibwa mu kitongole ekyamajje, era balina e naamba zamajje, era command yaabwe eyitamu netuukira ddala ku “C.D.F”, Era basasulwa kuva ku nsimbi ya muwi wa musolo, naye olwennonda gyebaalondebwaamu, eviira ddala ku mutongole wa kabaka, tukkirize nti bawulize eri namulondo, era baagala kabaka waabwe.
Tulekeraawo okubasojja, okubavuma, okuboogerera ebikikinike, okubawaayira, okubakonjera, n’okubavoola. Teebereza bwebawulira nga obayita abanyarwanda, (si kivumo “though”), ate nga balina emiziro, amanya gababakulira, “commenders of kabaka protection unit” ngaleseeyo, kubanga benjogeddeko nabo, bangambye nti kulw’ebyokwerinda bandiyagadde basigale nga ebibakwaatako tebisaadanyiziddwa, Naye nga baganda ddala, era omulimu gwebakola bagukoledde ebbanga mu buweereza bwa Ssabasajja.
Nayogerako ne muganda wange omu eyaliko omuweereza mu bwakabaka nga akola nga omumbowa, lwakuba ye yawummula, era naye emitendera gyeyayitamu okuyingira obuweereza buno teyawukanako na bali ababiri abajaasi gyebanyinyonnyola, lwakuba ye yagattako okufuna “stamp”, “signitures”, n’amabaluwa okuva ku “L.C1” mpaka ku “DISO”.
Ono no yantegeeza ne bino wammanga. Ekitongole kyonna ekikola obukuumi mu bwakabaka, kiyitibwa ekitongole eky’abambowa, mu lunyanyiimbe kiyitibwa “KABAKA PROTECTION UNIT”.
1. Kirimu abambowa abaayingizibwa mu majje
2. Kirimu Abambowa abambala amasuuti, (royal guards) (bwoba olaba emikolo gy’obwakabaka wabeerawo abakuumi ababeera mu masuuti, naye nga bwobatunuulira olabira ddala nti bamanyi kyebakola)
3. Wabeerawo n’abambowa oba abagalagala abambala embugo, “ebiraato”, omutega nsowera, amaliba, nga bakutte amafumu, emiggo n’engabo, okulaga ekifananyi eky’abambowa abaaliwo edda.
Abamu ku bano bakolera ddala omulimu ogwokukuuma, kati nga Oyo omunene omuwanvu, (Nze mweyitira “Mbego”, nga ono owa mu katabo ka “zinunula omunaku”), Naye nga alina erinya lye eryennono lyesijja kuteeka wano kubanga ayagala nyo “privacy”, naye nga muganda ddala, Naye abalara bo bakola mulimu guli “symbolic”, eyanyinyonyodde yabayise ba “kazanyirizi”, kyesandiyagadde kukozesa.
Bonna abo gyebali, bakola emirimu gyaabwe kinnawadda, era bonna baweereza Ssabasajja n’obwesimbu n’okwagala.
Akulira UNIT eno yonna eyabambowa “Kabaka protection Unit”, Lieutenant mulamba, naye nga era yayingira mu buweereza bwa Ssabasajja mu ngeri gye nyinyonyodde waggulu awo. Muganda ddala, naye era olw’okuba tekijja kumusanyusa, naye erinya ndireseeyo.
Okusunziira ku binyonyoddwa waggulu awo, buli lwowulira oli nga akulaga nti kikyaamu kabaka n’abantu be okukuumibwa abambowa ab’omulembe omupya, ye nga akujuliza bambowa aba “13th century “, mwekengere. Tandika okubuusabuusa ekigendererwa kye, bwoba osobodde, muwabule.
#AyiKatondaKuumaSsabasajja
#AwangaaleNyo