14.6 C
Los Angeles
December 4, 2023
Image default
AmawulireEssanyuFeatured

Buloba Parish ejaguzza emyaka 8.

Ekigo kya St. Joseph Balikuddembe Buloba Parish mu ssaza ekkulu ery’e Kampala, kijaguzza olunaku lw’omuwolereza wabwe n’olwekifo kyabwe okuweza emyaka 8 bukyanga kitandikibwawo.

Ekitambiro ky’Emmisa kikulembeddwamu Omubaka wa Ppaapa eyawummula Ssaabasumba Augustine Kasujja, n’omulamwa ogugamba nti “Beesiimye abaleeta emirembe, kubanga baliyitibwa baana ba Katonda”.

Bwabadde ayigiriza mu Mmisa, Ssaabasumba Augustine Kasujja, asabye Abakristu n’abakulembeze ku mitendera gyonna, bulijjo okutakabanira emirembe eri bebakulembera n’ebitundu byabwe byonna, n’okulumirirwa bebakulembera mu mbeera zonna.

Bwanamukulu w’ekigo kino Rev. Fr. Paul Ssembogga mu alipoota ye, agambye nti newankubadde ekigo kyabwe kikyali kipya emyaka munaana gyokka, kikulira ku misinde mingi ddala, nti kubanga kirina ebisomesa munaana era n’omuwendo gw’Abakristu guwa essuubi era bajjumbize mu byonna.

Alaze okusoomoozebwa kw’abasaserdooti,obutaba na nnyumba yabwe bakyali mu bupangisa, wasabidde Abakristu okwongeramu amaanyi mu kuzimbira abakulu webasobola okusula bawone obupangisa.

Omubaka omukyala owa ditrict y’e Wakiso, Betty Ethel Naluyima asabye abazadde naddala mu kiseera kino ng’abaana batandise okudda awaka mu luwummula, okubakuuma obulungi ku bantu ababi abeesomye okubatuusaako ebikolobero n’okubayigiriza ebizeezeze.

Obwakabaka bwa Buganda bukiikiriddwa Owek. Martin Sseremba Kaseekende era naye omukristu wa parish eno.

Related posts

Abaana babiri bafudde ekiziyiro – omu atwaliddwa mu ddwaliro.

OUR REPORTER

Owek. Bwanika asabye amasomero okunyweza ennimi ennansi.

OUR REPORTER

Eyasse mukaziwe n’abaana asindikiddwa ku alimanda.

OUR REPORTER

Leave a Comment