17 C
Los Angeles
September 25, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Chosen Becky ataddewo akakwakulizo eri Bba nakankana, amusabye ente 100..

Waliwo enjogera egamba nti sente sikyamakulu nnyo eri abakyaala naye ate sente z’ebyona eri abakyala, omuyimbi Chosen Becky yavudeyo nalaliika bba amanyikiddwa ennyo nga Dictator Amir aleme kwerijja kuby’okutekateeka okumukuba embaga nga ate talina sente.

Chosen Becky nga wetwogerera amaze emyaka 4 nga ayoyotebwa namugongo ye bba we ono Dictator Amir era nga berinamu n’omwana ow’obulenzi, yamusabye alindeko okukola entegeka ez’okumukuba empeta kubanga takikakasa nti oba ono anasobola okuwayo ente eziri mu 100 eri abazadde bbe.

Chosen Becky and boyfriend Dictator

Ababiri bano ebyenfuna yabwe byesulise nnyo era nga omukyala yasinga okuberamu n’ettooke eriwera olw’omulimu gw’okuyimba gwakola ogumuwa kukasente ate nga ye omwami yetetenkanyiza kumitimbagano.

Kinajukirwa nti gyebuvuddeko enŋŋambo zatambuzibwa nga ziraga nga abagalana bano bwebali bawukanye wabula amawulire gano bagasambajja nga bagamba nti byali bifumbiddwa abenonyeza ebyabwe.

Related posts

EKamuli abayizi b’essomero bekalakaasizza – 20 bali mu kkomera

OUR REPORTER

Eyaba omuBrazil atondose n’afiira mu kalwaliro.

OUR REPORTER

Ssaalongo atemye Nnaalongo ng’amuteebereza okuganza amusajja omulala.

OUR REPORTER

Leave a Comment