22.4 C
Los Angeles
June 4, 2023
Image default
AmawulireFeatured

Club Ambiance ekutte omuliro.

Omuliro ogutanakakasibwa kweguvudde gwokezza ekifo ekisanyukirwamu ekya Club Ambiance ettabi lye Masaka City.

Omuliro guno gutandise ku ssaawa nga munaana ez’ekiro.

Kigambibwa nti omuliro gutandikidde mu biwujjo ebikuba empewo eweweeza Club,  negukwata effumbiro negusaasaanira ekitundu ky’ekizimbe.

Abamu ku bakozi mu Ckub Ambiance okuli Ssalongo Benard Kagolo, Hadard Yiga n’abalala bagambanto wandiba nga waliwo omuntu ow’ettima ayokezza emmaali n’okwonoona emirimu gyabwe.

Omwogezi wa police e Masaka Kasirye Twaha agambye nti byebaakafunawo biraga nti omuliro guno gwandiba nga guvudde ku masannyalaze, wabula nga bakyayongera okwetegereza bakole alipoota enzijuvu

Related posts

Owek. Mayiga asisinkanye Ambasada wa Bungereza.

OUR REPORTER

Engeri muwala w’omubalirizi wa paramenti gye yafiride Mukabenjje e Namanve.

OUR REPORTER

POLIISI EKUTTE 6 ABALIMIRA ENJAGA MU BIKOMERA, EKUTTE NE BANNANNYINI MABAALA

OUR REPORTER

Leave a Comment