22.4 C
Los Angeles
June 4, 2023
Image default
AmawulireFeatured

COSASE ekunyizza ekitongole kya mazzi ku by’abakozi abakola ennyo nga basasulwa kitono.

Akakiiko ka palamenti akalondoola entambuza y’emirimu mu bitongole bya gavumenti aka COSASE kalagidde ekitongole ekivunaanyizibwa ku mazzi ekya NWSC okuleeta ebiwandiiko ebiraga emisaala abakozi ku buli mitendera gye bafuna.              

Akakiiko kano akakubirizibwa omubaka wa Nakawa West,  Joel Ssenyonyi olunaku lw’eggulo kaatandise okunoonyereza ku kitongole kino oluvannyuma lw’okufuna okwemulugunya nti abakozi abakola ennyo ate basasulwa kitono yadde nga ekitongole kikola amagoba mangi.

Okusinziira ku lipooti ya Ssaababalirizi w’ebitabo bya gavumenti ey’omwaka gw’ebyensimbi 2022/23, Obuwumbi 16 bwe bwasaasaanyizibwa ku bakozi abakola okusussa mu ssaawa ze balina okukoleramu gamba nga abakola ekiro kw’ossa ne ku wiikendi wabula nga eky’ewunyisa abakozi bano bagamba nti babadde tebasasulwa nsimbi zino.

Akulira ekitongole kino Dr. Eng. Silver Mugisha bw’alabiseeko mu kakiiko kano ababaka okubadde owa Kasilo County bamutadde ku nninga annyonnyole ku nsonga eno eyiting’ana mu mawulire nti abakola ennyo basasulwa kitono ate abatakola nnyo ne basasulwa ekingi.

Ssentebe w’akakiiko Joel Ssenyonyi bw’abuuziza Mugisha nsimbi mekka ze basasula buli mukozi ono amusabye akadde okuddayo yeekenneenye empapula ekintu ekibeewuunyisiza nga naye omusaala gw’asasulwa agaanye okugwogera

Wabula Mugisha ategeezezza nti engeri ekitongole gye kikola amagoba, bagenda kwogenza abakozi baabwe omusaala ebitundu 20 ku 100 ku gyeb abadde bafuna mu mwaka gw’ebyensimbi ogujja.

Wano, Ssennyonyi w’asinzidde n’amulagira okuleeta ebiwandiiko ebiraga emisaala egifunibwa mu kadde kano n’egyo gye basuubira okusasula mu mwaka gw’ebyensimbi ogujja.

Related posts

Ssegiriinya ne Ssewanyana gebakaba ge bakomba.

OUR REPORTER

Kituufu gavumenti ewagira aba opozisition obutajjibwa mu palamenti?

OUR REPORTER

POLIISI EREMESEZZA ABAYIZI BA IUIU ABABADDE BATEGEKA OKWEKALAKAASA

OUR REPORTER

Leave a Comment