Oluvannyuma lw’omusawo we Mulago Mathew Kirabo agambibwa okutta muganzi we Desire Mirembe okudduka, omu kubalwanirizi be ddembe era eyattukiza omusango guno Frank Gashumba, avuddeyo n’alumba ekitongole ekiramuzi nga bwe kyazannyira musango guno, okuva lwe kyaleka ateberezebwa okutta okuwoza ng’ava Waka, sso nga yali kumusango gwannaggomola.
Gashumba agamba nti, ” mu mwaka gwa 2015 omuwala Desire Mirembe eyali asoma obusawo mu university ye makerere yabuzibwawo, poliisi bwe yakola okunonyereza, kyazuula nti eyali muganziwe Mathew Kirabo yali amayi amayitire, era bwe yakwatibwa yakiriza nti ddala ye yali yatta Mirembe.
Kirabo yakulembera poliisi n’agitwala mu bikajjo e Lugazi gye yali asudde omulambo.
Gashumba agamba nti, Kooti enkulu e Jinja eyasooka okuwulira omusango guno, yakiriza Kirabo okweyimirirwa olw’okuba yalina okumaliriza emisomo gy’obusawo e makerere e biseera ebyo, era n’ateebwa olw’okuba yalina ab’oluganda n’abanene mu kitongole ekiramuzi, abalwana ennyo okulaba nga banafuya n’okulwawo okuwulira omusango guno mu kooti.
Gashumba era yategezezza nti, ensonda ezesigika mu kunonyereza ku musango guno bamutegezezza nti bbo Bali betegefu okweyongerayo n’omusango guno mu 2015 kuba balina obujulizi bwona obwali bwetagibwa kooti Nga buluma Kirabo nti ddala yeyatta muganzi we Desire Mirembe, naye olw’okuba ensonda ezamanyi mu kitongole ekiramuzi , bwe kiba kyasazeewo omusango guno kuguwulira mu mwaka guno 2021, tuli betegefu okuwa obujulizi bwonna obwetagibwa.
Ono yagambye nti Kooti okuttukiza omusango guno kyavudde ku akulira okulwanyisa enguzi mu maka g’obwa Pulezidenti Col.Edith Nakalema okuyingira mu musango guno ng’ayagala aba famile okufuna obwenkanya mu musango guno, oluvannyuma lwa Kirabo okugenda mu kooti ng’ayagala emuddize pasipoti ye asobole okugenda mu America okusobola okweyongerayo n’emisomo.
Omusango gwatandika okuwulirwa nga Kirabo awoza ava bweru era poliisi yaleeta abajulizi 13, era obujulizi obuzze buletebwa, omuli n’akatambi ka vidio akakwatibwa poliisi oluvannyuma lw’okukwata Kirabo, ng’akkiriza nga bwe yatta Mirembe era n’atwala poliisi mu bikajjo gye yuttira n’engeri gye yamusalamu emisuwa ebiri omuli ogutwala omukka (Oxygen) n’ogutwala omusaayi ku bwongo.
Mu katambi akessaawa ennamba, kalaga Kirabo ng’ali ne poliisi e Kiteezi gye bayiwa kasasiro gye yasuula amasimu ga Mirembe ng’amaze okumutta n’ekigendererwa eky’okubuza obujulizi, okuva e Kiteezi yabatwala ku poliisi e Nsambya n’abalaga ekika ky’akambe akakozesebwa okulongoosa abalwadde ke yakozesa okusala mirembe.
Ab’oludda oluwabi omuli n’aba famile babadde beralikira okulaba nti omuntu Ali ku musango gw’obutemu takwatibwa, awozza ava bweru wa kkomera, ng’ate abantu abazza emisango emitino bbo bawoza bava mu kkomera.
Ku Mmande ya Wiiki ewedde, Kirabo yawasizza omuwala omulala eyategerekese nga Janis Sakiraba Bakibinge munansi wa America, era wano Gashumba wategereza nga bwe balina obukakafu nti Kirabo ng’ayambibwako famile ye, bagala agende e Pennsylvania mu America abeere eyo n’omugole.
Omusango guno gubadde guwulirwa omulamuzi wa kooti enkulu e mukono Henry Kaweesi, era nga gwalina okuddamu okuwulirwa ku lw’okusatu lwa wiiki ewedde, wabula ba Looya ba Kirabo ne bategeeza kooti nti omuntu wabwe yali akwatiddwa ekirwadde Kya covid-19 era ng’ajjanjabirwa mu ddwaliro e Jinja, ne basaba omulamuzi okubsgumikirizamu okumala ennaku 25, ekintu omulamuzi kye yawakanyizza, era n’ayisa ekiwandiiko ekimukwata.