POLIISI e Mityana ekyagenda mu maaso n’okukunya ddereeva wa kamunye agambibwa okuvugisa ekimama n’akoona omwana omuwala ow’emyaka ekkumi n’afa nga y’akatuusibwa mu ddwaaliro .

Ivan Mwanje Kalyango ddereeva wa Kamunye nnamba UAZ 636 N y’agambibwa okuvugisa ekimama n’alumba omwana, Rose Nakyanzi kumabbali g’oluguudo e Kiwambya n’amukoona n’afa.
Ekyalo Kiwambya kiri mu muluka gw’e Ttanda mu Ggombolola y’e Kiwawu ku luguudo oluva e Kampala okudda e Mityana.

Omwogezi wa poliisi mu kitundu kya Wamala, Recheal Kawala, agambye nti emmotoka eri ku poliisi e Mityana gye bagenda okwebejja nga n’omulambo gukyali mu ggwanika ly’eddwaaliro e Mityana, ng’okubuuliriza bwe kugenda mu maaso.