bya Winnie Nakibuuka.
Abaana kirabo okuva eri katonda era kiba kivve nnyo okufuna omwana ate nootasiima oba n’omutta. Senga Maria Nantege owe Masanafu omukugu mu by’ekisenge agamba nti okuzza ku mwana kyandibadde nga entegeka okuva eri abaagalana okusooka okwebuzaganya okukakasa enjuyi zombi oba kisaanidde oba Nedda. Era bwebakiriziganya nti kuzza ku mwana bino byebirina okugobererwa okuva ku ffamire pulaaningi. Agamba nti eddagala lyonna eriziyiza okuzaala oba omukazi obutafuna lubuto nti oteekeddwa okusooka n’olivaako okulikozesa n’olyoka olowooza ku by’okuzza ku mwana. Ekyoyooyo, agamba nti abaagalana webafunira ekyoyooyo kye zzadde webalina okukikolera ne beegatta nga n’obwagazi weebuli okutuukiriza ebiruubirirwa. Ayongedde nti kino kiva mukuteeseganya singa nga basazeewo okusooka okutegekera omwana, omwana agenda okuzaalibwa nga bali mu mbeera nnungi. Emyaka gy’abaagalana, agamba nti kino kisinga kwesigama nnyo ku bakazi nti bo banguwa okutuuka ku kkomo ly’okufuna olubuto okutandikira wakati wa myaka 45 okutuuka ku 50 awo emikisa gy’omukazi okufuna olubuto giba mitono ddala nti balina okuzza ku mwana nga emyaka jikyali mito . Okuzaala okumala amangu, agamba nti wabeerawo abaagala okuzaala amangu okuweza abaana oluvannyuma bakiwummule bakole ebirala kino kibawa entegeka ey’okwekulakulanya.