17 C
Los Angeles
September 25, 2023
Image default
AmawulireEssanyuFeatured

Ddiiru yange ne Mao teyaliimu kukyuusa buyinza, Museveni.

Pulezidenti  Museveni yeesambye eby’okukaanya ku kutandika enteekateeka y’okukyuusa obuyinza bwebaali bakola omukago ne Ssenkaggale w’ekibiina ki Democatic Party, Norbert Mao mu July w’omwaka guno.

Bweyabadde awayaamu n’omukutu gwa ttiivi ye Kenya ogwa KTN, Museveni yagambye nti  ekyabaleese Mao kwali kusikiriza baludda oluvuganya okwegatta ku gavumenti ye so si kuyambako ku  nteekateeka ya kukyuusa buyinza kuba teriiwo akaseera  kano.

“ Enteekateeka yaffe yakuteekawo obumu mu ngeri zonna ezisoboka eri abo abasobola okukaanya naffe  tusigaze abatuwakanya nga beebatono. Eno y’enkola yaffe kati era tujoogera mu lwattu,”  Museveni bwe yategeezezza.

Okwogera bino, Museveni abadde ayanukula ekibuuzo ku bigambo Mao byazze  ayogera nalaga nga bweyalondebwa mu gavumenti okusobozesa okuteekawo enteekateeka y’okukyuusa obuyinza mu mirembe.

Mao yalondebwa mu kkabineeti mu July, 2022 oluvannyuma lw’okukola endagaano ne Pulezidenti Museveni .

Ebigambo bya Pulezidenti Museveni byejjeereza abazze balabula Mao nga bategeeza nga Pulezidenti Museveni bw’atakuuma kigambo kye nga asobola okwefuula akadde konna.

Kino kiddiridde abamu ku bannakibiina okutabukira Mao nga baagala ave ku bwa Ssenkaggale nga bagamba nti endagaano ya Mao ne Museveni erimu bingi ebitategeerekeka.

Okusinziira ku Museveni, ekyamuleesa Mao kwekuba nti yali omu ku bakulembeze mu Acholi ababadde balwanyisa NRM oluvannyuma lw’okuggyako Tito Okello Lutwa. Okello yali ava mu Acholi era yaliko Pulezidenti  wakati wa 1985-1986.

Pulezidenti Museveni agamba nti omusika we ajja kulondebwa nga bagoberera amateeka g’ekibiina ki NRM nga Mao byatambuza tamanyi gyabijja.

Related posts

Ssaabalabirizi Mugalu awabudde abasajja ku DNA.

OUR REPORTER

Owek. Mayiga atongozza ekitundu ky’omwaka ‘B ‘eky’ Emmwaanyi Terimba.

OUR REPORTER

Ssaalongo atemye Nnaalongo ng’amuteebereza okuganza amusajja omulala.

OUR REPORTER

Leave a Comment