Jajja w’obusiraamu Omulangira Dr.Kasim Nakibinge Kakungulu asabye abavunanyizibwa ku by’okwerinda okukomya okutulugunya abasiraamu, buli lwewabaawo embeera etali ntebenkevu mu ggwanga.
Omulangira Okwogera bino abadde Kibuli Ku Muzigiti mu Dua y’omugenzi Sheik Nooh Muzaata Batte ayali omwogezi wa Office ya Supreme Mufti.
Jajja Mbuga agambye nti ennaku zino buli lw’owulira ababbye emmundu abasiraamu emitima nga gibewanika, nti kubanga abakuuma ddembe bebatandikirako okunoonya.
Mu ngeri yeemu Mbuga anyonyodde ekyabawalirizza okusoma edua ya Sheik Muzaata ku Muzigiti e Kibuli, nti kino kyebabadde basobola okumwebaza olwebyo byeyakolerera obusiraamu.
Asiimye Muzaata olwokuba nti yakola nnyo okukuuma enju y’omulangira Badru Kakungulu naddala ku bantu abaali bagala okugikkakanya.
Supreme Mufti Shk Muhammad Shaban Galabuzi tayawukanye ku Mbuga bwasabye Minister Minsa Kabanda, nti ategeeze government nti ekikolwa kyokuwamba abantu mu mmotoka za Drone bwekisanye kikomezebwe.
Omumyuka asooka owa Katikkiro wa Buganda Dr Twaha Kaawaase Kigongo asabye abantu okutwala ebika byabwe nga kikulu ddala, nti kubanga ne mubusiraamu Nabbi Muhamad SAW Yakaatiriza nnyo ekika abantu mwebava, saako okuwa ekika ekitiibwa.
Asiimye Sheik Muzaata okuba nti yali musaale mukuwa ekikaakye ekitiibwa.
Omukulu w’ekika kye Enjovu Jajja Mukalo abadde n’owesiga Ssemambo Muhamoud, banjulidde Mbuga n’obusiraamu Omusika wa Sheik Muzaata nga ye Amjad Ssozi Muzaata.
Jajja Mukalo Omusika amusabye akukulembere bulungi banne era aleme kuswaza family ye ne Kika.
Sheik yasiin Kiweewa nga yeyadda mu kifo ky’okukulira Daawa e Kibuli ekyalimu Sheik Muzaata, ategezezza nti Sheik Muzaata afanana ekyafaayo ekyayogerwako mu Quran, ng’rkiseera kijja kutuuka nga abantu bwebanafunanga ekizibu nga balyooka bajjukira Sheik Muzaata.
Omukolo guno gwegatidwako ba Minister ba Buganda okubadde Owek Hamis Kakomo, Minister Hajat Minsa Kabanda nga yakikiridde government yawakati, ababaka ba Parliament Muwadda Nkunyingi, Kiwanuka Abdallah Mulima Mayuuni, Muwanga Kivumbi, Denis Nyeko, n’abakulu abalala.bangi.