21.6 C
Los Angeles
September 26, 2023
Image default
AmawulireFeatured

E Jinja  abekalakaasi 67 basindikiddwa ku alimanda.

Omulamuzi omukulu owa kkooti esookerwako e Jinja,  Jude Okumu Muwone yasindise abantu abawera 67 abakwatibwa nga beekalakaasa e Jinja okuwakanya ebbeeyi y’ebintu ku alimanda  e Kirinya nga abalanga okwekalaasa mu ngeri emenya amateeka.

Bano ku alimanda batwaliddwayo ku Mmande nga bano bebamu ku bantyu abeetaba mu kwekalakaasa okwali e  Bugembe, Mafubira ne Namulesa.  Kati bano bakudda mu kkooti nga August, 9,  2022.

Abeekalakaasi bano baali balaga obutali bumativu ku gavumenti gyebagamba nti terina kintu kyonna kyekozeewo nga emiwendo gy’ebintu gyongera okupaala.

Wabula  okwekalakaasa kuno kwavaamu obuvuyo era abamu ku bakwetabamu babuukawo n’ebisago, poliisi bweyali egezaako okubagumbulula.

Oluvannyuma lw’obunkenke kati ebintu bitandise okudda mu nteeko mu bitundu bye Bugembe, Kikalamoja, Namulesa ne Mafubira era abamu ku basuubuzi batandise okudda ku mirimu.

Kigambibwa nti okwekalakaasa kuno kwava ku bubaka obwenjawulo obwayitira ku mitimbagano nga busaba bannansi obutakola nga akabonero akalaga obutali bumativu ku bbeeyi y’ebintu.

Related posts

Eyabba embuzi ya muliraanwa we akaligiddwa emyezi 2 mu kkomera.

OUR REPORTER

KATIKKIRO ATONGOZZA OLUKIIKO OLUNAATEEKATEEKA AMATIKKIRA 2022 N’OKUTIKKULA OLUWALO OKUVA MU BANNASSINGO LWA BUKADDE 20.

OUR REPORTER

Dr Besigye ne Bobi Wine bassazewo okukolera awamu.

OUR REPORTER

Leave a Comment