Catherine Ntabadde omwogezi wa UNICEF mu Uganda ategeezezza nti Karamoja kye kitundu ekisinze okufiibwako abagabirizi b’obuyambi wabula embeera z’abantu zikyagaanye okukyuka ng’abasinga obungi tebalina kaabuyonjo, ekivaako endwadde nga ekiddukano, omusujja gw’ensiri, ebbula ly’amazzi amayonjo , endya embi mu baana n’abakulu nga bino bireese bangi bafudde naddala abaana.

MU kaweefube w’okutumbula embeera z’abantu b’e Karamoja naddaala abaana, ekitongole ky’ensi yonna ekivunaanyizibwa ku baana ekya UNICEF nga kiri wamu n’ebitongole okuli ekya World Food Programme (WFP) n’ebirala nga bali wamu ne bannamawulire batalaze ebitundu by’e Karamoja eby’enjawulo mu disitulikiti y’e Moroto ne Kaabong.
Okunoonyereza kulaze ng’abaana abali wansi w’emyaka etaano obutundu 21.9% be bakonzibye e Moroto n’ebitundu 19.6%, e Kaabong olw’endya embi we beeyongedde nnyo nga kino abakulembeze mu disitulikiti zino baakitadde ku bubbi bw’ente obugenda mu maaso, ekyeya ekiyitiridde, obwavu, obutasoma n’endowooza ey’okuweebwa abantu gye bakuliddemu.

Catherine Ntabadde omwogezi wa UNICEF mu Uganda ategeezezza nti Karamoja kye kitundu ekisinze okufiibwako abagabirizi b’obuyambi wabula embeera z’abantu zikyagaanye okukyuka ng’abasinga obungi tebalina kaabuyonjo, ekivaako endwadde nga ekiddukano, omusujja gw’ensiri, ebbula ly’amazzi amayonjo , endya embi mu baana n’abakulu nga bino bireese bangi bafudde naddala abaana.
Dr. Sharif Nalibe akulira eby’obulamu e Kaabong agamba nti abaana 25 be bafa buli luvannyuma lwa myezi esatu olw’endya embi.
Laba ebifaananyi eby’enjawulo ebiraga embeera mu disitulikiti zino mu magombolola okuli Rupa, Nadunget, Sudoku ne Kakamar.