17 C
Los Angeles
September 25, 2023
Image default
AmawulireEssanyuFeatured

E Ssese aba Rotary bazimbidde abeetaavu amayumba.

Omumyuka wa Katikkiro Owookubiri era Omuwanika wa Buganda,  Oweek. Robert Wagwa Nsibirwa, yatongozza amaka agazimbiddwa aba Rotary club y’e Kalangala, Ssese, mu nkola ey’okudduukirira abo abeetaaga okubeerwa.

Ku mukolo guno ogwabadde e Beta, Mulole mu bizinga by’e Ssese olunaku lwa Sunday, Owek waggwa amaka ya gakwasizza Muky. Nakamaanya Expedito.

Omuwanika yeebazizza nnyo Bannalotale b’e Ssese abakulemberwa Mw. Paul Ssemanda olw’okuggyayo  obulungi ennono ya Rotary nga bayamba abantu awatali ku kulembeza ndowooza ya byabufuzi wadde eddiini.

Yagambye nti obugunjufu bw’abakulembeze bupimibwa nnyo ku ngeri gye bakwatamu oba gye bayisaamu abantu abaabulijjo.

Yeebazizza nnyo abatandisi ba Rotary club eno olw’okwolesebwa kwe baafuna ne bagitandikawo ate ne bannyikiza ekinyusi kya Rotary eky’okuyamba abantu abali mubwetaavu.

Yasabye Muky. Nakamaanya okwongera okwerwanako nga alima n’okulunda, asobole okweyimirizaawo, kuba yo Rotary emuzimbidde amaka,  naye okweyimirizaawo buvunaanyizibwa bwe.

Owek. Wagwa yakiggumizza nti ebisoomooza mu nsi bingi, naye tulina kuba bayiiya okulaba engeri gye tubivvuunuka.

Yakoowodde abaweereza ab’ekikugu ku district y’e Kalangala okwegatta ku Rotary basobole okuyambako mu kukyusa embeera z’abantu.

Ye Omukulembeze wa Rotary Club y’e Kalangala Ssese Mw. Paul Ssemanda, yawadde alipoota ku bikoleddwa omuli, okuleeta ekirowoozo eri Bannalotale eky’okujja omuntu omu mu mbeera embi, era mwe mwavudde ebibala eby’amaka ga Muky. Nakamaanya, baatambula mu masomero 2, ne basomesa abaana, okubaagazisa okusoma naddala omwana omuwala, okwewala okunywa ebiragalalagala, ekyali kifuuse ekizibu mu bizinga by’e Ssese, baafuna obugaali 8 obwa abaana abaali tebasobola kutambula.

Omwami w’essaza ly’e Ssese, Owek Augustine Kasirye ategeezeza Katikkiro nti e Ssese bali bumu era kye kibasobozesezza okugenda mu maaso.

Yeebazizza Mw. Paul Ssemanda olw’okutandikawo ekyuuma ky’emmwanyi ky’agambye nti kigenda kwanguyiza abalimi b’Emmwanyi okwongera omutindo gw’ekirime kino mu Kalangala.

Related posts

Omusumba Jjumba atongozza  ekibiina ekigatta abakozi.

OUR REPORTER

FORTEBET-ALEX MUHANGI SOCCER TOUR FIRES UP JINJA

OUR REPORTER

Okuziika omulamuzi Stella Arach Amoko kwongezeddwaayo.

OUR REPORTER

Leave a Comment