17.4 C
Los Angeles
December 7, 2023
Image default
AmawulireEditor's PicksEssanyuFeaturedSENGA

Ebibuzo byabagalana ne ssenga

Ssenga ndi mupangisa ku mayumba e Busega naye muka muliraanwa anzisa amaddu ate ayambala bubi ng’alinga alina kyabala ate nze ndi muwuulu, oba mugambeko nga nfa. Moses Kafeero.

Kafeero mutabani ng’olabye n’obuzibu obwo okuba nti watandika okwegomba mukazi wa muliraanwa. Naye ekikemo ekyo wandifubye okukyeggyamu kubanga kiyinza okukufiiriza obulamu. Kati wuuyo ogambye mupangisa ku nnyumba zeezimu, watya nga bba akitegedde olaba bwa kukola ekibi? Oba watya nga balwadde, naawe ne bakusiiga obulwadde era lwaki olowooza nti omukazi akulinako ekigendererwa okuggyako ng’asusse okukiraga?

Abakazi abamu ennaku zino bbo bambala bubi oluusi  ne baleka ggwe alaba ku buzibu era banyumirwa naye tekitegeeza nti buli ayambala obubi kitegeeza nti musabeeko.

Kyoyinza okusooka okulowoozaako naawe noonya omukazi owuwo afaanana ng’ono owa neyiba akussa amaddu oba asingako owone okulookeera oba mugambeko nti asusse okwambala enkunamyo, Haa naye on’obeera toyingiridde eddembelye? Ekisinga mulabe bulabi ate omuggyeko ebirowoozo oba kikulemye senguka kasita wuuyo opangisa okusinga lwonoontankuula  byotagya kusobola.

EKIBUZO NO.2

Ssenga waliwo omulenzi ankwana era olumu ampaayo ebirabo kyokka saagala kwegatta naye nga njagala asooke kumpasa. Taanyige nandekawo ate nga nange mpulira ntandise okumuwa ebirowoozo. Nkole ntya?

Nze Namubiru Ritah , Masaka.

Mwanawange Namubiru, okusooka weebale kubeera mwana Mulungi atapapira nsonga za kwegatta kubanga zo nzibu ddala. Ekibi nti sitegedde myakagyo naye ondabikira otuuse mu myaka egifumbirwa.

Bw’oba ng’oli mu myaka egyo olina okusooka n’omanya ekyo kyoyagala. Bbo abasajja baagala nnyo okwegatta n’abakazi era nooyo atakulinaako kigendererwa asobola okukutokota alabe ng’omuggyiramu empale akweggale ate tolina gyolimuloopa ssinga akukozesa n’amala n’akulekawo.

Obulabo bw’akuwa, bulungi kubanga omukazi ebiseera ebisinga aliwo kuweebwa naye byenkanaki era kigendererwa ki? Sooka oyongere okumwetegereza ate mugezeeko okukyogerako naye akubuulire pulaani gy’akulinako. Bwaba ayagala bufumbo okimanye era ne bw’abeera ayagala by’amangu omanye.

Ekibi mu laavu kwekuyingira ekintu kyotamanyi gye kigenda kukoma naye nga kirungi okukola ekyo kyosoose okwogekera nti oli mu laavu yaddala oba onyumirwamu bunyumirwa. Mpozzi n’ekirala abasajja balimba nnyo n’olwekyo leka ebikolwa byogere okusinga ebigambo ate omanye nti ekitiibwa okifuna okyewadde bw’ofuuka kimpenkyekubire oyinza okudiba nga buli ajja akulyako buli.

Related posts

Abakyala babuuliriddwa okulwanirira eddembe lyabwe.

OUR REPORTER

FORTEBET GIFTS WOW KYEGEGWA, MUBENDE, MITYANA WITH PRICELESS GIFTS

OUR REPORTER

FORTEBET PAINTS MUKONO, KATOSI WITH AMAZING FREEBIES

OUR REPORTER

Leave a Comment