EKITONGOLE ky’ebigezo ekya Uganda National Examinations Board (UNEB), leero lwe kigenda okufulumya ebyava mu bigezo bya S6 (UACE) ebyatuulibwa omwaka oguwedde, 2022.
Bino bye bigezo UNEB by’egenda okusembayo okufulumya omwaka guno, oluvannyuma lw’okufulumya ebya P7 ne S4.

Minisita omubeezi ow’ebyenjigiriza eby’amatendekero aga waggulu, Dr. JC Muyingo y’asuubirwa okutongoza okufulumya ebigezo bino ku ssaawa 5:00 ez’oku makya ga leero ku Ofiisi ya Katikiro wa Uganda mu Kampala.
Abayizi 98,392 be baatuula ebigezo bino okwetooloola Uganda ng’abanaaba babiyise okweyongerayo ku Yunivasite oba amatendekero aga waggulu amalala basuubirwa okutandika okusoma mu August mu mwaka gw’ebyensoma ogwa 2023/24.