WABADDEWO okwewuttula enguumi n’okusikangana ebitogi ku kitebe kya KCCA e Makindye ng’ abaserikale abakuuma minisita wa Kampala, Minsa Kabanda benyoola ne Kenneth Male kansala akiikirira Makindye 1 ku KCCA.
Ensasagge eno okubeerawo kiddiridde Male okuweebwa omuzindaalo n’atandika okuwanyisiganya ebigambo ng’a byolekeza Minisita ku nteekateeka ya Parish Development Model minisita bw’abadde agenze okulaba oba abantu basomeseddwa ekimala.
Mu kwogera kwe agambye nti baminisita n’abakungu ba gavumenti bakodo, abantu basomesebwa dda naye bagaanyi okubawa ssente za Parish Development Model beekulakulanye, kino kyakuleetera abantu okukyawa NRM bayingire ekibiina kya NUP.

Kino kitabudde abantu ababadde beetabye ku mukolo guno ne minisita ne batabuka ekiddiridde kubadde kwewuttula bikonde na kusikangana bitogi wakati wa abaserikale abakuuma minisita ne kkansala.
Minsa Kabanda agambye nti ekisinze okutabula enteekateeka za gavumenti z’ereetera abantu okwekulaakulanya be bakulembeze abali ku ludda oluvuganya gavumenti abawabya abantu ne bababuuza nga bawakanya enteekateeka zonna ez’okwekulaakulanya.
Ono yeewuunyizza nnyo kkansala akiikirira abantu ku KCCA ng’afuna omusaala gwa gavumenti wabula ate n’avumirira pulogulaamu ya gavumenti ereeteddwa okukulakulanya abantu.
Bino byonna byabaddewo eggulo minisita bwe yabadde ayitiddwa mu munisipaali y’e Makindye okulambula abantu abakwasibwa omulimu gw’okusomesa abalala ku nteekateeka ya PDM.
Yategeezezza nti oluvannyuma lw’okulambula munisipaali za Kampala waakutegeeza minisita w’ebyensimbi okuteeka ssente ku SACCO z’abantu oluvannyuma baggyeyo ssente zino basobole okwekulaakulanya.