Wiiki gyetwakakuba emabega, empaka za Olympics zajjiddwako akawuuwo mu ggwanga lya Japan mu kibuga Tokyo era nga zaakutojjera okutuuka nga 8 omwezi ogujja. Bino byebikwata ku z’omulundi guno.
1 Guno mulundi gwakubiri nga empaka zino zikyazibwa mu Tokyo nga ogwasooka gwaliwo mu 1964.
2 Empaka zino zibalibwa nga ez’omwaka oguwedde kubanga lwezaali zirina okutojjera naye nezisazibwamu olwa covid 19.
3 Emizannyo 33 gyejigenda okuzannyibwa mu Olympics wadde nga jigabanyizibwamu munda emizannyo 339.
4 Mu buli muzannyo, omuwanguzi wakufuna omudaali ogwa zaabu, owokubiri afune omudaali ogwa ffeeza ate owokusatu afune omudaali ogw’ekikomo.
5 Amawanga 204 gegeetabye mu mpaka z’omulundi guno.
6 Abazannyi mu mizannyo egy’enjawulo 11238 beebasuubirwa n’okuyitamu.
7 Empaka eziddako zaakubeera mu Paris, France mu 2024.