Ekirwadde kikubye omubaka wa Kawempe Ssegirinya Muhammad omubaka wa Kawempe North ne Allan Ssewanyana owa Makindye West nebaggwa mu mu kkomera e Kigo okubakanya babawa makelenda GA Panado .
Bino bitegezeddwa akulira oludda oluvuganya gavumenti Mathias Mpuuga ate nga ye Mubaka Nyendo Mukungwe bwabadde abakyaliddeko mu kkomera okubazaamu amanyi wakati nga abakkirizza abakiriliza mu Yesu nga bajajaguza amazukira ga Kristo.

Mpuuga agambye nti embeera Ssegirinya ne Ssewanyana gyebalimu enakuwazza abalonzi bwabwe ababalonda kubanga bataddeko omugejjo ogutali gwabulijjo ekiraga nti waliwo ekirwadde ekibalya y’ensonga lwaki tebaletebwa mu kkooti kubanga bakulu ba makomera batya okubalaga abantu olw’embeera gyebalimu.

Ayongeddeko nti bagala ababaka bano batwalibwe mu ddwaliro bafune obujanajabi mu bwangu kubanga singa tewaberewo kikolebwa mu bwangu ababaka bano batuuse okufiira mu kkomera eKigo.
Ategezezza nti olw’embeera gyasanzeemu ababaka bano agenda ollkwogera nebanna mateeka bwabwe okuli Erias Lukwago, Shamim Malende babeeko kyebakola ku mbeera ababaka gyebalimu wekinagaana okukola agenda kusisinkana sipiika wa palamenti Annet Anitah Among abeeko nekyakola Eric obulamu bwabaka bano kubanga alina ku ddoboozi erisingiwo erisobola okusa bekikwatako ku ninga nebaako kyebakola ekitaasa obulamu bwa babaka bano.
Kigambibwa nti puleesa y’all Ssegirinya eyongedde okulinya okusinziira ku mbeera annals bano gyebayitamu nga bali mu kkomera.
Kinajjulirwa nti Ssegirinya ne Ssewanyana baakwatibwa kubigambibwa nti betaba mu bikolwa by’ebijambiya ebyali mu bitundu by’e Masaka.