21.6 C
Los Angeles
September 26, 2023
Image default
AmawulireFeatured

EBOLA: Museveni alabudde abaddukira mu basawo b’ekinnansi.

Pulezidenti Museveni alabudde abasawo b’ekinnaansi okukomya okukkiriza okujjanjaba abalwadde ba Ebola era n’asaba n’abantu ababeera bafunye ekirwadde kino okwewala okunoonya obujjanjabi mu basawo bano.

Bweyabadde ayogerako eri abantu ku Lwokusatu, Pulezidenti Museveni yagambye nti abantu abawerako e Mubende baddukidde mu masabo nabatabuzi b’eddagala bwebafuna obubonero bwa Ebola nabalabula nti kino kigenda kwongera kusaasaanya kirwadde kino.

“Njagala okulagira abasawo b’ekinnansi bonna natabula eddagala obutakkiriza bantu ba kirwadde kino mu masabo gabwe nga baagala okujjanjabwa. Mubawabule bagenda mu malwaliro amazungu,” Museveni bwe yagambye.

Ebigambo bya Museveni biddiridde ebigambibwa nti waliwo omusajja Twagiira Yezu Ndahiiro ow’emyaka 45 eyaliko neyafa ebola wabula  nadduka ku kyalo gyeyali abeera Kanseera e Mubende nagenda mu basawo b’ekinnansi okusobola okujjanjabwa.

Wabula ono embeera ye yeyongera okubeera embi natwalibwa mu ddwaliro e Kiruddu mu Kampala gyeyafiiridde wiiki ewedde.

Museveni agamba nti kyabulabe abasawo b’ekinnaansi okujjanjaba ekirwadde kya Ebola kuba tebalina bukugu kwang’anga birwadde nga bino nabakuutira bwebafuna omulwadde yenna alina obubonero bwa Ebola okuyita abakugu ba Minisitule y’ebyobulamu.

Pulezidenti Museveni annyonnyodde nti obubonero nga omusujja, okulumwa omutwe, omubiri okubeera omunafu, obulumi mu kifuba, Okuddukana, okusesema, okuva omusaayi mu matu, mu kamwa, emabega n’amaaso bafune obujjanjabi mu malwaliro agaliraanyewo nga bakozesa Ambyulensi so si ntambula ya lukale omuli takisi ne booda booda.

Ono asabye ab’evbyokwerinda abayambako Minisitule y’ebyobulamu mu disitulikiti ez’enjawulo okubeera obulindaala naddala mu bifo abalwadde bano gyebajjanjabirwa okulaba nti tebatolokayo.

Okusinziira ku pulezidenti Museveni, tewanabaawo muntu yenna afa kirwadde kya Ebola mu Kampala ng’ono eyafiiridde e Kiruddu yali yatoloka Mubende nalaga mu basawo b’ekinnaansi.

Okuva ekirwadde kino lwekyabalukawo omwezi oguwedde, abantu 54 bebakakasiddwa nti bakirina, 19 bafudde ate 20 omuli nabasawo 5 basiibuddwa oluvannyuma lw’okuwona ekirwadde kino.

Related posts

Abalimi bagala gavumenti eyongere amanyi mukulima emmere enansi

OUR REPORTER

Ukraine olutalo elukyusizza n’eruzza munda mu Russia.

OUR REPORTER

Agambibwa okutunda omwenge gwa mukama we asindikiddwa e Luzira.

OUR REPORTER

Leave a Comment