24.2 C
Los Angeles
September 24, 2023
Image default
AmawulireFeatured

EBOLA: Pulezidenti Museveni atabukidde bannayuganda.

Pulezidenti  Yoweri Kaguta Tibuhaburwa Museveni, atabukidde bannayuganda abalemedde ku kunyooma ebiragiro ebyateekebwawo Minisitule y’ebyobulamu okulwanyisa ekirwadde ky’ Ebola nti bayinza okuzza eggwanga ku muggalo.

Bino Museveni yabituuseeko bweyabadde ayogerako eri eggwanga ku mbeera y’ekirwadde kino eggulo ku Lwokusatu.

Okusinziira ku Museveni obunkenke bweyongedde kuba Ebola kati atuuse mu disitulikiti eziwera 8 omuli; Mubende, Kassanda, Kyegegwa, Bunyangabu, Kampala, Wakiso, Jinja ne Kagadi, wadde nga engeri y’okumulwanyisaamu emanyiddwa.

Museveni agambye nti singa banna Kampala, tebakomye nkola zakumenya biragiro ebyabaweebwa nabo boolekedde okukolebwako n’amaanyi, era nabalabulabula ne kunkola yokwekwata mu ngalo ekomezebwe bunnambiro.

Ono era alabudde abagoba ba bodaboda mu disitulikiti  eziri ku muggalo, nti tabakkirizangako kuweekako bantu okuggyako emigugu kikendeeze ku nsaasaana y’ekirwadde kino.

Kaguta yagasseeko nti nsinga abantu tebaawulirize biragiro byabaweebwa wakukola eky’obulabe ekisingako, nalabula abavuga ebimotoka ebisaabaza ebyamaguzi okukomya okukusa abantu nga babayingiza n’okubafulumya disitulikiti eziri ku muggalo.

Bino webijjidde nga abakazuulibwamu Ebola kati bali  141 , abaakafa bali 55, abalala 73 basiibuddwa so nga mu malwaliro wasigaddeyo  13 bokka.

Waliwo abalala 4,147 abaabadde mu kalantiini, 2,784 baamazeyo ennaku zaabwe 21 ez’okulondoolwa era abasawo nebazuulwa nti tebalina Ebola.

Mu ngeri ey’enjawulo, Pulezidenti Museveni yeebazizza abakulembeze mu disitulikiti ye Mubende olw’okukola ennyo okumalawo ekirwadde kino kuba kati kitutte akaseera nga tebafuna mulwadde w’ Ebola okuva mukitundu kino.

Ono yalabudde ab’e Kassanda gyagambye nti yewasinga okusaasaana obulwadde olw’okumala geeyisa mu ngeri etategeerekeka.

Museveni bano era yabalangidde okulonda ab’oludda oluvuganya gavumenti mu 2021 abatamanyi kituufu kirina kukolebwa.

Related posts

Bp. Michael Lubowa asabye bannayuganda  okujjumbira enteekateeka z’Obwakabaka.

OUR REPORTER

Omusumba Ssenyonga bamututte mu office ya abakozi lwa butasasula.

OUR REPORTER

Okuwulira omusango ogwawabwa owa NUP kujulidde mwaka gujja.

OUR REPORTER

Leave a Comment