17.4 C
Los Angeles
December 7, 2023
Image default
Amawulire

Ebya Bakaluba bibi Nambooze na aba NUP Bamutabukide okutetera na ba NRM.

Abe’kibiina kya National Unity Platform e Mukono bakikide Rev. peter Bakaluba Mukasa ssentebe wa districti y’e Mukono esingo olw’okubayitamu akanana nalonda owa NRM okubeera omumyuka we.

Ku lwokubiri lwa wiiki ewede oluvanyuma lwa  Bakaluba okuba ebilayiro kukitebe kya disitulikiti Omubaka Nambooze ne bakansala be ekibiina kya Nup bagwaawo ekigwo Bakaluba yakala amaaso nalangilira omumyuka we nalangilra muna kibiina kya NRM Asuman Muhumuza okubera omumyukawe era ekino kyalese bana kibiina kya Nup nga baasobeddwa. Bano ekyasinze okubakwasa enaku kwekusanga abakulembeze ba Nrm nga  bebali ku lusegere lwa Bakaluba okwa bade ne chairman wa NRM mukulayira.

Bwe yabadde alangilira Muhumuza yategezeza nti kino yakikoze okusobola okusembeza abasiramu kumwanjo nabo basobole okweyagalira mu distulikiti yabwe. Kyoka bana kibiina kya Nup bagamba nti ono yabadde yekwasa kubanga  ne mu Nup mulimu abasiramu abasobola okubera  mukifo ekyo. Bakaluba aze akyogera lunywe nga bwagenda okolagana negavument eri mubuyinza okusobola okuwereza bana Mukono.

Nambooze era nga ye yakulira ekibiina kya Nup mu bendobendo lya Mukono  ku mukutu gwe ogwa facebook  yayambalide Bakaluba namulangira obulimba bwe yalimba kanso nti abasiramu bamusaba ekifo kino so yalina ebigenderwa ebibye. “twafiridwa ekifo kyo omumyuka, Bakaluba bwe yalimbye kanso nti yalina endagaano gye yali akozze n’abasiramu okubawa ekifo kino newankubade nail namulondera bakansala abasiramu 4 aba Nup n’owa namunigina omu alonde kwaabo omumyuka we,”bwatyo Nambooze bwetaegezeza.

Nambooze kino yakivumiride nga agamba nti abamu ku bana kibiina kya NUP  nga Bakaluba bekobanye naba NRM okubawa ebifo ebisava nga bekwasa nti bannonya kufuna buvugirizi bwa nsimbi okuva ew’omukulembeze we ggwanga, ono agamba nti kyenyamiza okuba nti waliwo abakulembeze abakyalina enddowooza nti ensimbi y’omuwi w’omusolo ya Museveni ng’omuntu saako n’okweteeka ku ba RDC’s be. “ Lwaki temwesimbirawo ku kaadi ya NRM, kyali kibetagisa okudyekadyeka NUP” Bwatyo omubaka Nambooze bwabuziza Bakaluba

Ono yategezeza Bakaluba akimanye nti oyo asembaye okuseka obulungi era nategeeza nti bajja kufuna abalibenkwe bangi nga ye ne mu palamenti naye tebagenda kuva ku mulamwa.

Akulira eby’okulonda mukibiina kya NUP e Mukono Lugolobi Richard Kasirivu yewunyiza engeri Bakaluba gye yabalidemu olukwe okutuuka okulonda owa NRM.

Bino we byagide nga gyebuvudeko Bakaluba yalaga nga bwasobola okukolagana ne M7  era nasaba minister Kibuule okumutwaala ewa Museven. Newakubade Bakaluba yayagala okwetaba ku mukolo gwokulayira kwa M7 nga nekaadi emuyita yali agifunye tekyasoboka olwa pleasa eyamuyitlirako okuva mukibiina kya NUP.

Kyoka  Nambooze  yalabise nga alidde ebigambo kubanga 8/5/2021 mu makkage agasangibwa ku kyalo Nakabago mu kibuga Mukono mulukugaana lw’abanamawulire yavaayo nawoleleza  ssentebe Bakaluba Mukasa nga bweyali tayinza kuddamu kwekulubeesa neba nakibiina kya NRM nti n’ebigambo byeyayogeera nga 5/5/2021 bweyali ku kitebe kye ggombolola e Nama we yasabira abadde omubaka we kitundu kino mu palimenti era minisita omubeezi ow’amazzi Ronald Kibuule amuyambe asisikane omukulembeze we ggwanga nti bino byonna byali byakusaga.

Related posts

Ebya Nambooze bibi, Bobi akamutemye.

OUR REPORTER

Abakyala 10 bakuggulwako emisango mu kooti.

OUR REPORTER

Abaana babiri bafiiridde mu luzzi.

OUR REPORTER

Leave a Comment