Eggulo webwazibidde nga waliwo bamemba ba CEC ya NRM abaabadde balemeddeko Hon Rebecca Kadaga avunaanibwe.Bano okuli nampala wa NRM hon Ruth Nankabirwa ne ssaabawandisi wa NRM Justine Kasule Lumumba bagamba nti Kadaga okunyomoola ekibiina bwatakangavvulwa kiyinza okuleeta obwa kiwagi mu kibiina.Kyokka CEC y’abadde tenavaamu memba yenna oba NRM asaba Kadaga avunaanibwe.Bino biri mu kiseera nga Pulezidenti Museveni ne NRM bali mu kumaliriza bya kulonda lukiiko lwa baminisita abapya.Waliwo abagala Kadaga wadde yeeyisizaamu nga bwe yakoze awebwe ekifo ekisava oba obwa obumyuka bwa Pulezidenti kubanga memba wa CEC era ye mumyuka wa ssentebe wa NRM atwala Busoga ate era akyali muzito mu maanyi n’obuwagizi.Abawagira Kadaga bagambye okusinziira ku nsonda nti ebyokumuvunaana biringa ebiretebwa okumulemesa ogufo.Nga kabineeti tenakakasibwa Pulezidenti atera kusooka kulonda ssaabaminisita n’omumyukawe nga bano beebasooka okukakasibwa akakiiko ka Palamenti akavunaanyizibwa ku kukakasa bonna anabeera bawereddwa obwa minisita.

next post